1 Samwiri
Essuula 23
Awo ne babuulira Dawudi nti Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyaga amawuuliro.
2 Dawudi kyeyava abuuza Mukama nti ŋŋende nkube Abafirisuuti abo? Mukama n'agamba Dawudi nti Genda okube Abafirisuuti olokole Keyira.
3 Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, tutiiridde wano mu Yuda: kale tetulisinga nnyo bwe tuligenda e Keyira okulwana n'eggye ly'Abafirisuuti?
4 Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama nate olw'okubiri. Mukama n'amuddamu n'ayogera nti Golokoka oserengete ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo.
5 Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne banyaga ente zaabwe, ne babatta olutta olunene. Awo Dawudi n'alokola abaatuula e Keyira.
6 Awo olwatuuka, Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yadduka eri Dawudi e Keyira, yaserengeta ng'alina ekkanzu mu mukono gwe.
7 Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti Katonda amugabudde mu mukono gwange: kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.
8 Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, okuserengeta okugenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be.
9 Dawudi n'ategeera Sawulo ng'amwagaliza akabi; n'agamba Abiyasaali kabona nti Leeta wano ekkanzu.
10 Awo Dawudi n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, omuddu wo awuliridde ddala Sawulo nga ayagala okujja e Keyira, okuzikiriza ekibuga ku lwange.
11 Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo. Mukama n'ayogera nti Aliserengeta.
12 Awo Dawudi n'alyoka ayogera nti Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo? Mukama n'ayogera nti Balikuwaayo.
13 Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga ne bagolokoka ne bagenda okuva mu Keyira ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Ne babuulira Sawulo Dawudi ng'awonye okuva mu Keyira: n'alekayo okutabaala.
14 Awo Dawudi n'atuula mu ddungu mu bigo, n'abeera mu nsi ey'ensozi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atamugabula mu mukono gwe.
15 Dawudi n'alaba nga Sawulo atabadde okunoonya obulamu bwe: era Dawudi yali mu ddungu ery'e Zifu mu kibira.
16 Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agolokoka, n'agenda eri Dawudi mu kibira, n'anyweza omukono gwe mu Katonda.
17 N'amugamba nti Totya; kubanga omukono gwa Sawulo kitange tegulikulaba; era gw'oliba kabaka wa Isiraeri nange ndikuddirira obukulu; era n'ekyo Sawulo kitange akimanyi,
18 Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama: Dawudi n'abeera mu kibira, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye.
19 Awo ab'e Zifu ne bambuka ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ewaffe mu bigo mu kibira ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'eddungu?
20 Kale nno kaakano, ai kabaka, serengeta, ng'emmeeme yo yonna bw'eyagala okuserengeta; naffe okumuwaayo mu mukono gwa kabaka kuliba kwaffe.
21 Sawulo n'ayogera nti Muweebwe Mukama omukisa; kubanga munsaasidde.
22 Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo: kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo.
23 Kale mulabe, muzige ebifo byonna mw'ateegera mwe yeekweka, mukomewo gye ndi so temulema kujja, nange ndigenda nammwe: awo olulituuka, oba ng'ali mu nsi, ndimunoonya ne mmulaba mu nkumi zonna eza Yuda.
24 Awo ne bagolokoka ne bagenda e Zifu okukulembera Sawulo: naye Dawudi n'abasajja be baali mu ddungu ery'e Mawoni, mu Alaba ku luuyi olw'eddungu olw'obukiika obwa ddyo.
25 Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni.
26 Sawulo n'agenda ku mabbali g'olusozi eruuyi, ne Dawudi n'abasajja be ku mabbali g'olusozi eruuyi: Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okutya Sawulo; kubanga Sawulo n'abasajja be baazingiza Dawudi n'abasajja be enjuyi zonna okubakwata.
27 Naye ne wajja omubaka eri Sawulo ng'ayogera nti Yanguwako ojje; kubanga Abafirisuuti bakwekwese mu nsi.
28 Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti: ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi.
29 Awo Dawudi n'avaayo n'ayambuka n'abeera mu bigo ebya Engedi.