1 Samwiri
Essuula 29
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki: Abaisiraeri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri.
2 Awo abaami b'Abafirisuuti ne bayitawo ebikumi n'ebikumi n'enkumi n'enkumi: Dawudi n'abasajja be ne bayitira wamu ne Akisi nga basemba.
3 Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti Abaebbulaniya bakola ki wano Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti Ono si Dawudi, omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, eyaakamala nange ennaku zino oba emyaka gino, so sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero?
4 Naye abakulu b'Abafirisuuti ne bamusunguwalira; abakulu b'Abafirisuuti ne bamugamba nti Muzzeeyo omusajja oyo addeyo mu kifo kye kye wamulagira, aleme okuserengetera awamu naffe mu lutalo, aleme okufuuka omulabe waffe mu lutalo kubanga olusajja luno lwandyetabaganyizza naki ne mukama we? si na mitwe gya basajja bano?
5 Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?
6 Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange: kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero: naye abaami tebakwagala.
7 Kale nno ddayo ogende mirembe oleme okunyiiza abaami b'Abafirisuuti.
8 Dawudi n'agamba Akisi nti Naye nkoze ki oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka?
9 Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda: naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti Tajja kwambuka naffe mu lutalo:
10 Kale nno golokoka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe: awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende.
11 Awo Dawudi n'agolokoka mu makya, ye n'abasajja be, okugenda enkya, okuddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bambuka e Yezuleeri.