1 Samwiri
Essuula 31
Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti, ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa.
2 Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3 Olutalo ne lumuba bubi Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne yeeraliikirira nnyo olw'abalasi.
4 Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banfumita ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5 Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye.
6 Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ku lunaku olwo wamu.
7 Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9 Ne bamusalako omutwe, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi ey'Abafirisuuti enjuyi zonna, okubuulira ebigambo ebyo mu masabo omwali ebifaananyi byabwe ne mu bantu.
10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu nnyumba ya Baasutaloosi: ne basiba omulambo gwe ku bbugwe ow'e Besusani.
11 Awo ab'e Yabesugireyaadi bwe baamuwulirako ekyo Abafirisuuti kye baakola Sawulo,
12 awo abazira bonna ne bagolokoka ne batambula ne bakeesa obudde ne baggya omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be ku bbugwe w'e Besusani, ne bajja e Yabesi ne bagyokera eyo.
13 Ne baddira amagumba gaabwe, ne bagaziika wansi w'omumyuliru e Yabesi ne basiibira ennaku musanvu.