1 Samwiri
Essuula 19
Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yamusanyukira nnyo Dawudi.
2 Yonasaani n'abuulira Dawudi ng'ayogera nti Sawulo kitange ayagala okukutta: kale nno kaakano, nkwegayiridde, weekuume enkya obeere mu kifo eky'ekyama weekise:
3 nange naafuluma ne nnyimirira ku mabbali ga kitange mu nnimiro mw'oli, era naateesa ne kitange ebigambo byo; era bwe ndiraba ekigambo kyonna, ndikubuulira.
4 Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n’amugamba nti Kabaka tayonoonanga muddu we Dawudi; kubanga takwonoonanga ggwe, era kubanga ebikolwa bye byabanga birungi nnyo gy'oli;
5 kubanga yateeka obulamu bwe mu mukono gwe n'akuba Omufirisuuti, Mukama n’akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu: wabulaba n'osanyuka: kale kiki ekikwagaza okwonoona omusaayi ogutaliiko musango, okutta Dawudi awatali nsonga?
6 Sawulo n'awulira eddoboozi lya Yonasaani: Sawulo n'alayira nti Mukama nga bwali omulamu, talittibwa.
7 Yonasaani n'ayita Dawudi, Yonasaani n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'aleeta Dawudi eri Sawulo, n'abanga mu maaso ge ng'olubereberye.
8 Ne waba entalo nate: Dawudi n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti, n'abatta olutta olunene; ne badduka mu maaso ge.
9 Awo omuzimu omubi ogwava eri Mukama gwali ku Sawulo, ng'atudde mu nnyumba ye ng'akute ffumu lye mu ngalo ze; ne Dawudi ng'akuba ennanga n'engalo ze:
10 Awo Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi n'okumukwasa n'ekisenge n'effumu; naye ne yeemulula mu maaso ga Sawulo, n'akuba effumu mu kisenge: Dawudi n'adduka n'awona ekiro ekyo.
11 Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi, okumukuuma, bamutte enkya: Mikali mukazi wa Dawudi n'amubuulira ng'ayogera nti Bw'otoowonye bulamu bwo ekiro kino, onottibwa enkya.
12 Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa: n'agenda n'adduka n'awona.
13 Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'ateeka ekigugu eky'ebyoya by'embuzi emutwetwe, n'akibikkako embugo.
14 Awo Sawulo bwe yatuma ababaka okukwata Dawudi, n'ayogera nti Alwadde.
15 Sawulo n'atuma ababaka okulaba Dawudi ng'ayogera nti Mumundeetere mu kitanda ndyoke mmutte.
16 Awo ababaka bwe baayingira, laba, terafi ng'ali mu kitanda, ekigugu eky'ebyoya by'embuzi nga kiri emutwetwe.
17 Sawulo n'agamba Mikali nti Onnimbidde ki bw'otyo, n'ota omulabe wange agende n'okuwona awonye? Mikali n'addamu Sawulo nti Yaŋŋambye nti Ka ŋŋende; nandikuttidde ki?
18 Awo Dawudi n'adduka n'awona n'ajja eri Samwiri e Laama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda ne batuula e Nayosi.
19 Ne babuulira Sawulo nti Laba, Dawudi ali e Nayosi mu Laama.
20 Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi: awo bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga balagula ne Samwiri ng'ayimiridde nga gwe mutwe gwabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, ne balagula nabo.
21 Awo bwe baamubuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne balagula. Awo Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogw'okusatu, era nabo ne balagula.
22 Awo naye n'agenda e Laama, n'ajja awali oluzzi olunene oluli e Seku: n'abuuza n'ayogera nti Bali ludda wa Samwiri ne Dawudi? Ne waba eyayogera nti Laba, bali e Nayosi mu Laama.
23 N'agendayo e Nayosi mu Laama: omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye era, ne yeeyongerayo n'alagula okutuusa lwe yajja e Nayosi mu Laama.
24 Era naye ne yeeyambulamu engoye ze, naye n'alagulira mu maaso ga Samwiri n'agalamira nga taliiko ky'ayambadde n'azibya obudde obwo n'akeesa obudde. Kyebava boogera nti Ne Sawulo ali mu bannabbi?