1 Samwiri
Essuula 5
Awo Abafirisuuti baali banyaze essanduuko ya Katonda, ne bagiggya e Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi.
2 Abafirisuuti ne baddira essanduuko ya Katonda ne bagireeta mu ssabo lya Dagoni ne bagiteeka ku mabbali ga Dagoni.
3 Abasudodi bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama. Ne baddira Dagoni ne bamuzza nate mu kifo kye.
4 Awo bwe baagolokoka olw'okubiri enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssaaduuko ya Mukama; n'omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi eby'emikono gye nga bitemeddwako nga bigalamidde mu mulyango; ekiwududu kya Dagoni kye kyamusigalirawo kyokka.
5 Bakabona ba Dagoni kyebaava balema okulinnya ku mulyango gwa Dagoni mu Asudodi na buli kati, newakubadde omuntu yenna ayingira mu nnyumba ya Dagoni.
6 Naye omukono gwa Mukama ne gubazitoowerera Abasudodi, n'abazikiriza, n'abalwaza ebizimba, Asudodi era n'ensalo zaakyo.
7 Awo Abasudodi bwe baalaba nga kyali bwe kityo, ne boogera nti Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri teribeera naffe: kubanga omukono gwe gutuluma ne Dagoni Katonda waffe.
8 Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya gye bali abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isiraeri? Ne baddamu nti Essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri etambuzibwe okutuusa e Gaasi. Ne batambuza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri.
9 Awo olwatuuka, bwe baamala okugitambuza, omukono gwa Mukama ne gulwana n'ekibuga ne gubakeŋŋentereza nnyo nnyini: n'alwaza ab'omu kibuga, abato n'abakulu, ebizimba ne bifuutuuka ku bo.
10 Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda okugenda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yatuuka e Ekuloni, Abaekuloni ne boogerera waggulu nga boogera nti Batambuzizza essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri ne bagituusa gye tuli, okututta n'abantu baffe.
11 Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Musindike essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, eddeyo mu kifo kyayo, ereme okututta n'abantu baffe: kubanga okukeŋŋenterera okw'okufa kwabuna ekibuga kyonna; omukono gwa Katonda gwazitowa nnyo eyo.
12 N'abo abataafa ne balwala ebizimba: okukaaba kw'ekibuga ne kulinnya mu ggulu.