Olubereberye
Essuula 9
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi.
2 N'ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey'ensi, ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n'ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe.
3 Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng'omuddo ogumera byonna mbibawadde.
4 Naye ennyama awamu n'obulamu bwayo, gwe musaayi gwayo, temugiryanga.
5 Era omusaayi gwammwe, ogw'obulamu bwammwe, siiremenga kuguvunaana; eri buli nsolo nnaaguvunaananga: n'eri omuntu, eri buli muganda w'omuntu, n'avunaananga obulamu bw'omuntu.
6 Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw'omuntu, omusaayi gwe guyiyibwenga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu.
7 Nammwe mwalenga, mweyongerenga; muzaalenga nnyo ku nsi, mweyongerenga omwo.
8 Katonda n'agamba Nuuwa n'abaana be awamu naye,
9 nti Nange, laba, nnywezezza endagaano yange nammwe era n'ezzadde lyammwe erinaddangawo;
10 era na buli kiramu ekiri awamu nammwe, ennyonyi, ente, na buli nsolo ey'ensi awamu nammwe; byonna ebiva mu lyato, buli nsolo ey'ensi.
11 Nange nnaanywezanga endagaano yange nammwe; so ebirina omubiri byonna tebikyazikirizibwa nate mulundi gwa kubiri n'amazzi ag'amataba; so tewakyabaawo mataba nate mulundi gwa kubiri okuzikiriza ensi.
12 Katonda n'ayogera nti Kano ke kabonero ak'endagaano gye ndagaana nze nammwe na buli kitonde kiramu ekiri nammwe, okutuusa emirembe egitaliggwaawo:
13 nteeka musoke wange ku kire, era anaabanga kabonero ak'endagaano gye ndagaanye n'ensi.
14 Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku kire,
15 nange najjukiranga endagaano yange, gye ndagaanye nze nammwe na buli kitonde kiramu ekirina omubiri kyonna; n'amazzi tegaafuukenga nate mataba okuzikiriza omubiri gwonna.
16 Ne musoke anaabanga ku kire; nange naamutunuuliranga, njijukire endagaano eteridiba Katonda gy'alagaanye na buli kitonde ekiramu ekirina omubiri kyonna ekiri mu nsi.
17 Katonda n'agamba Nuuwa nti Ako ke kabonero ak'endagaano gye nnywezezza nze na buli ekirina omubiri ekiri mu nsi.
18 N'abaana ba Nuuwa, abaava mu lyato, Seemu, ne Kaamu, ne Yafeesi: ne Kaamu ye yazaala Kanani.
19 Abo bonsatule Nuuwa be yazaala: n'abazzukulu b'abo be baabuna ensi zonna.
20 Nuuwa n'atanula okuba omulimi, n'asimba olusuku olw'emizabbibu:
21 n'anywa ku mwenge gwalwo, n'atamiira: n'akunamira mu weema ye.
22 Kaamu, ye yazaala Kanani, n'alaba ensonyi za kitaawe, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru.
23 Seemu ne Yafeesi ne batoola ekyambalo, ne bakiteeka ku bibegabega byabwe bombi, ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku nsonyi za kitaabwe; era amaaso gaabwe nga gatunuulira nnyuma, ne batalaba nsonyi za kitaabwe.
24 Nuuwa n'atamiirukuka mu mwenge gwe, n'amanya omwana we omuto bwe yamukola.
25 N'ayogera nti, Kanani akolimirwe; Anaabanga muddu w'abaddu eri baganda be.
26 Era yayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we.
27 Katonda agaziye Yafeesi, Era atuulenga mu weema za Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we.
28 Nuuwa n'awangaala amataba nga gamaze okubaawo emyaka bisatu mu ataano.
29 N'ennaku zonna eza Nuuwa zaali myaka lwenda mu ataano: n'afa.