Olubereberye

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50

0:00
0:00

Essuula 27

Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti Mwana wange: n'amugamba nti Nze nzuuno.
2 N'ayogera nti Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako.
3 Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza, omufuko gwo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo;
4 era onnongooseze ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere, ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa.
5 Lebbeeka n'awulira Isaaka bwe yayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta.
6 Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti
7 Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.
8 Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange ng'ebyo bwe biri bye nkulagira.
9 Genda kaakano eri embuzi, onkimireyo abaana b'embuzi abalungi babiri; nange naazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala:
10 naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.
11 Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti Laba, Esawu muganda wange ye musajja ow'obwoya, nange omubiri gwange guseerera.
12 Mpozzi kitange anampeeweetako, nange naafaanana gyali ng'omulimba; era neereetako okukolimirwa, so si mukisa.
13 Nnyina namugamba nti Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange: kino kyokka, wulira eddoboozi lyange, ogende obinkimire.
14 N'agenda, n'abikima, n'abireetera nnyina : nnyina n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, nga kitaawe bwe yayagala.
15 Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'ayambaza ebyo Yakobo omwana we omuto:
16 n'ateeka amaliba g'abaana b'embuzi ku ngalo ze, ne ku nsingo awaseerera:
17 n'awa omwana we Yakobo mu ngalo ze ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali alongoosezza.
18 N'ajja eri kitaawe, n'ayogera nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange?
19 Yakobo n'agamba kitaawe nti Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bw'ondagidde: golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, obulamu bwo bunsabire omukisa.
20 Isaaka n'agamba omwana we nti Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange? N'ayogera nti Kubanga Mukama Katonda wo ambedde.
21 Isaaka n'agamba Yakobo nti Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala nantiki si ye wuuyo.
22 Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu.
23 N'atamwekkaanya, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu: kale n'amusabira omukisa.
24 N'ayogera nti gwe mwana wange Esawu ddala ddala? N'ayogera nti Nze nzuuyo.
25 N'ayogera nti Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, obulamu bwange bukusabire omukisa. N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera omwenge, n'anywa.
26 Kitaawe Isaaka n'amugamba nti Sembera kaakano onnywegere, mwana wange
27 N’asembera, n'amunywegera n'awulira akaloosa ek'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti Laba, akaloosa ak'omwana wange kaliŋŋanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa:
28 Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, Ne ku bugimu obw'ensi, N'eŋŋaano nnyingi n'omwenge mungi:
29 Abantu bakuweerezenga N'amawaanga gakuvuunamirenga: Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga: Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.
30 Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo tannaviira ddala eri Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n’alyoka ayingira ng'avudde okuyigga.
31 Era naye n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti Kitange agolokoke, alye ku muyiggo ogw'omwana we, obulamu bwo bunsabire omukisa.
32 Isaaka kitaawe n'amugamba nti Ggwe ani? N'ayogera nti Nze mwana wo, omubereberye wo, Esawu.
33 Isaaka n'akankana nnyo nnyini, n'ayogera nti Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n’agundeetera, nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne mmusabira omukisa? era naye n'okuweebwa aliweebwa omukisa.
34 Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba okukaaba okunene ennyo era okw'ennaku ennyingi, n'agamba kitaawe nti Nsabira nze, era nange, ai kitange.
35 N'ayogera nti Muganda wo azze ng'alimba, era akuggyeko omukisa gwo.
36 N'ayogera nti Teyatuumibwa bulungi erinnya lye Yakobo? kubanga annyingiriridde mu byange emirundi gino gyombi: yanziyako eby'obukulu bwange; ne kaakano, laba anziyeeko omukisa gwange. N'ayogera nti Tonterekedde nange mukisa?
37 Isaaka n'addama n'agamba Esawu nti Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbawadde eri ye okumuweerezanga; era mmujjanjabye n'eŋŋaano n'omwenge: kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?
38 Esawu n'agamba kitaawe nti Olina omukisa gumu gwokka, kitange? nsabira nze, era nange, ai kitange. Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
39 Isaaka kitaawe n'addamu n'amugamba nti Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;
40 N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Olikunkumula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.
41 Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira: Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti Ennaku ez'okukaabira kitange ziriteta okutuuka; ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo.
42 Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta.
43 Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; ogolokoke, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani:
44 omaleyo naye ennaku si nnyingi, okutuusa obukambwe bwa muganda wo lwe bulyekooloobya;
45 obusungu bwa muganda wo lwe bulyekooloobya gy'oli, naye lw'alyerabira kye wamukolera: ne ndyoka ntuma, ne nkuggyayo: kiki ekyandinfiisizzaako mmwe mmwembi ku lunaku olumu?
46 Lebbeeka n'agamba Isaaka nti Obulamu bwange bunkooyesezza olw'abawala ba Keesi: Yakobo bw'aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab'omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya?