Olubereberye
Essuula 31
N'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti Yakobo byonna ebyali ebya kitaffe abimuggyeeko; era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde ekitiibwa ekyo kyonna.
2 Yakobo n'alaba amaaso ga Labbaani, era laba, nga tegakyafaanana gy'ali ng'olubereberye.
3 Mukama n'agamba Yakobo nti Ddayo mu nsi ya bajjajja bo, era eri baganda bo; nange naabeeranga wamu naawe.
4 Yakobo n'atuma n'ayita Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye,
5 n'abagamba nti Ndabye amaaso ga kitammwe nga tegakyafaanana gye ndi ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange yabeeranga nange.
6 Era mumanyi nga naweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna.
7 Era kitammwe yannimba, n'awaanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi.
8 Bwe yayogeranga bw'ati nti Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi: era bwe yayogeranga bw'ati nti Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.
9 Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako n'aziwa nze.
10 Awo olwatuuka mu biro ekisibo bwe kyawaka amawako, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndabira mu kirooto, era, laba, embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo.
11 Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti Yakobo: ne njogera nti Nze nzuuno.
12 N'ayogera nti Yimusa kaakano amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo: kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukolera.
13 Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo: kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.
14 Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti Tukyalina omugabo oba obusika mu nnyumba ya kitaffe?
15 Tetubalibwa nga bannaggwanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala.
16 Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole.
17 Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira;
18 n'atwala naye ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza, ebisibo bye yali afunye, bye yakuŋŋaanyiza mu Padanalaamu, agende eri Isaaka kitaawe mu nsi ya Kanani.
19 Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze: Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe.
20 Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuuIira ng'adduka.
21 Bw'atyo n'adduka ne byonna bye yalina; n'agolokoka n'awunguka omugga, n'akyusa amaaso ge eri olusozi olwa Gireyaadi.
22 Ne babuulira Labbaani ku lunaku olw'okusatu nga Yakobo yadduka.
23 N'atwala naye baganda be, n’amugoberera olugendo lwa nnaku musaavu; n'amutuukako ku lusozi Gireyaadi.
24 Katonda n'ajjira Labbaani Omusuuli mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi.
25 Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye ku lusozi; ne Labbaani ne baganda be ne basimba ku lusozi Gireyaadi.
26 Labbaani n'agamba Yakobo nti Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala?
27 Kiki ekyakuddusa ekyama ng'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga;
28 n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? kaakano okoze kya busirusiru.
29 Kiri mu buyinza bw'omukono gwange okukukola obubi: naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro, nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi.
30 Ne kaakano oyagala nnyo okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo, (naye) kyewava obba bakatonda bange kiki?
31 Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Kubanga natya: kubanga nayogera nti Oleme okunziyako bawala bo olw'empaka.
32 Buli gw'onoolaba ng'alina bakatoada bo, taabe mulamu: mu maaso ga baganda baffe yawulamu ebibyo ebiri ewange, obyetwalire. Kubanga Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri ye yababba.
33 Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri.
34 Laakeeri yali atutte baterafi, n'abassa mu matandiiko g'eŋŋamira, n'abatuulako. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba.
35 N'agamba kitaawe nti Mukama wange aleme okusunguwala kubanga siyinza kukuyimirira w'oli kubanga ndi mu mpisa y'abakazi. N'anoonya, naye n'atalaba baterafi.
36 Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani: Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikungoberesezza embiro?
37 Kubanga oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabye ku bintu byonna eby'omu nnyumba yo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango fembi.
38 Emyaka egyo abiri nabeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, n'ennume ez'omu kisibo kyo siziryanga.
39 Eyataagulwanga ensolo saakuleeteranga; nze nnafiirwanga eyo; wagivunaananga mu mukono gwange, obanga yabbibwanga misana oba yabbibwanga kiro.
40 Bwe nnaabeeranga bwe ntyo; emisana omusana gwanzigwerangako, n'ekiro empewo; n'otulo twambulanga mu maaso gange.
41 Emyaka egyo abiri nabeeranga mu nnyumba yo; nakuweererezanga emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'ekisibo kyo; naawe wawaanyisanga empeera yange emirundi kkumi.
42 Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, n'akujunga ekiro.
43 Labbaani n'addamu n'agamba Yakobo nti Abawala be bawala bange, n'abaana be baana bange, n'ebisibo by'ebisibo byange, ne byonna by'olaba bye byange: ne leero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba baana baabwe be baazaala?
44 Kale nno kaakano, tulagaane endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa eri nze naawe.
45 Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba okuba empagi.
46 Yakobo n'agamba baganda be nti Mukuŋŋaanye amayinja; ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu: ne baliira awo awali entuumu.
47 Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa: naye Yakobo n'agituuma Galeedi.
48 Labbaani n'ayogera nti Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero. Erinnya lyayo kyeryava libeera Galeedi:
49 era Mizupa, kubanga yayogera nti Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana.
50 Bw'onoobonyaabonyanga abaana bange, era bw'onoowasanga abalala awali abaana bange, tewali muntu ali naffe; laba, Katonda ye mujulirwa wakati wange naawe.
51 Labbaani n'agamba Yakobo nti Laba entuumu eno, era laba n'empagi eno, gye nsimbye wakati wange naawe.
52 Entuumu eno eneebeeranga omujulirwa, n'empagi ebeerenga omujulirwa, nga nze siriyita ku ntuumu eno okugenda gy'oli, era nga naawe toliyita ku ntuumu eno n'empagi eno okujja gye ndi, okukola obubi.
53 Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe. Yakobo n'alayira Entiisa ya kitaawe Isaaka.
54 Yakobo n'aweerayo saddaaka ku lusozi, n'ayita baganda be okulya emmere: ne balya emmere, ne babeera ku lusozi ne bakeesa obudde.
55 Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera batabani be ne bawala be n'abasabira omukisa: Labbaani n'agenda, n'addayo mu kifo kye.