Olubereberye
Essuula 17
Awo Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu.
2 Nange ndiragaana endagaano yange nze naawe, era ndikwaza nnyo.
3 Ibulaamu n'avuunama amaaso ge: Katonda n'ayogera naye nti
4 Nze, laba, endagaano yange eri naawe, naawe oliba kitaawe w'amawanga amangi.
5 So tokyayitibwanga nate erinnya lyo Ibulaamu, naye erinnya lyo linaabanga Ibulayimu; kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi.
6 Era ndikwaza nnyo, era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe.
7 Era ndinyweza endagaano yange nze naawe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna okuba endagaano eteridiba, okuba Katonda eri ggwe n'eri ezzadde lyo eririddawo.
8 Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo eririddawo ensi gye watambulirangamu, ensi yonna eya Kanani, okugirya emirembe gyonna; era nze, naabeeranga Katonda waabwe.
9 Katonda n'agamba Ibulayimu nti Naawe, gw'olikwata endagaano yange, ggwe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna.
10 Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze nammwe n'ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mummwe anaakomolwanga.
11 Era munaakomolwanga omubiri gw'ekikuta kyammwe; era kunaabanga kabonero ak'endagaano eri nze nammwe.
12 Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwanga mu nnyumba, era n'oyo munnaggwanga yenna gw'anaabaguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe.
13 Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwanira okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba.
14 N'omusajja atali mukomole atakomolwanga mu mubiri gw'ekikuta kye, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be; ng'amenye endagaano yange.
15 Katonda n'agamba Ibulayimu nti Salaayi mukazi wo, tokyamuyita erinnya lye Salaayi, naye Saala lye linaabanga erinnya lye.
16 Nange ndimuwa omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w'amawanga; bakabaka b'abantu baliva mu ye.
17 Ibulayimu n'alyoka avuunama amaaso ge, n'aseka, n'ayogera mu mutima gwe nti Omwana alizaalirwa oyo eyaakamaze emyaka ekikumi? era ne Saala, eyaakamaze emyaka ekyenda, alizaala?
18 Ibulayimu n'agamba Katonda nti Singa Isimaeri anaabanga mulamu mu maaso go!
19 Katonda n'ayogera nti Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana; naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka: nange naanywezanga endagaano yange naye okuba endagaano eteridiba eri ezzadde lye eririddawo.
20 N'ebya Isimaeri, nkuwulidde: laba, mmuwadde omukisa, era ndimwaza, era ndimwongera nnyo; alizaala abakungu kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eddene.
21 Naye endagaano yange naaginywezanga eri Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja.
22 N'aleka okwogera naye, Katonda n’alinnya n'ava eri Ibulayimu.
23 Ibulayimu n'atwala Isimaeri omwana we, ne bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye, ne bonna abaagulibwa n'ebintu bye, buli musajja mu bantu ab'omu nnyumba ya Ibulayimu, n'abakomolera ku lunaku olwo omubiri gw'ekikuta kyabwe, nga Katonda bwe yamugamba.
24 Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye.
25 Ne Isimaeri omwana we yali yaakamaze emyaka kkumi n'esatu, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye.
26 Ku lunaku lumu Ibulayimu n'akomolebwa ne Isimaeri omwana we.
27 N'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, abo abaazaalirwa mu nnyumba, n'abo munnaggwanga yenna be yamuguza n'ebintu, ne bakomolwa wamu naye.