Olubereberye
Essuula 30
Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n'akwatirwa obuggya muganda we; n'agamba Yakobo nti Mpa abaana, oba tompe, n'afa.
2 N'obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri: n'ayogera nti Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma ebibala eby'olubuto?
3 N'ayogera nti Laba omuzaana wange Bira, yingira gy'ali; alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye.
4 N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa: Yakobo n'ayingira gy'ali.
5 Bira n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.
6 Laakeeri n'ayogera nti Katonda ansalidde omusango, era ampulidde eddoboozi lyange, era ampadde omwana ow'obulenzi: kyeyava amutuuma erinnya lye Ddaani.
7 Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri.
8 Laakeeri n'ayogera nti Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw'amaanyi, era mmezze: n'amutuuma erinnya lye Nafutaali.
9 Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zirupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo okumuwasa.
10 Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.
11 Leeya n'ayogera nti Kirungi! n'amutuuma erinnya lye Gaadi.
12 Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri.
13 Leeya n'ayogera nti Ndabye omukisa! kubanga abawala banampitanga wa mukisa: n'amutuuma erinnya lye Aseri.
14 Lewubeeni n'agenda mu nnaku mwe baali bakungulira eŋŋaano, n'alaba amadudayimu mu nnimiro, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'amugamba Leeya nti Mpa, nkwegayiridde, ku madudayimu ag'omwana wo.
15 N'amugamba ye nti Kigambo kitono okunziyako baze? era oyagala okunziyako n'amadudayimu ag'omwana wange? Laakeeri n'amugamba nti Kyanaava asula naawe ekiro kino olw'amadudayimu ag'omwana wo.
16 Yakobo n'ava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'ayogera nti Kikugwanira okuyingira gye ndi; kubanga mazima nkuweeredde amadudayimu ag'omwana wange. N'asula naye ekiro ekyo.
17 Katonda n'awulira Leeya, n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okutaano.
18 Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange: n'amutuuma erinnya lye Isakaali.
19 Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga.
20 Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze anaatuulanga nange kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga: n'amutuuma erinnya lye Zebbulooni.
21 Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma arinnya Dina.
22 Katonda n'ajjukira Laakeeri, Katonda n'amuwulira, n'aggula olubuto lwe.
23 N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Katonda anziyeeko okuvumibwa kwange:
24 n'amutuuma erinnya lye Yusufu, ng'ayogera nti Mukama annyongereko omwana omulala ow'obulenzi.
25 Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n'agamba Labbaani nti Nsindika ŋŋende mu kifo ky'ewaffe, era mu nsi ey'ewaffe.
26 Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, nneegendere: kubanga omanyi okuweereza kwange kwe nnakuweerezanga.
27 Labbaani n'amugamba nti Kaakano obanga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano: kubanga nfumiitirizza nga Mukama yampa omukisa ku bubwo.
28 N'ayogera nti Nsalira empeera yo, nange naagiwanga.
29 N'amugamba nti Omanyi bwe nnakuweerezanga, era ebisibo byo bwe byali nange.
30 Kubanga bye walina nga sinnajja bitono, era byeyongedde okuba ebingi; era Mukama akuwadde omukisa gye nnakyukiranga yonna: ne kaakano ndifuna ddi eby'ennyumba yange nze era?
31 N'ayogera nti Naakuwa ki? Yakobo n'ayogera nti Toliiko ky'onompa: bw'olinkolera kino, naalundanga nate ekisibo kyo, naakikuumanga.
32 Naayita leero mu kisibo kyo kyonna, nga nziyamu buli eya bujagijagi n'eya bitanga, na buli nzirugavu mu ndiga, n'eza bitanga n'eza bujagijagi mu mbuzi: era y'eneebanga empeera yange.
33 Bwe butyo obutuukirivu bwange bulimpolereza oluvannyuma, bw'olijja olw'empeera yange eri mu maaso go: buli eteri ya bujagijagi oba eya bitanga mu mbuzi, oba nzirugavu mu ndiga, eyo bw'erirabika nange eribalibwa nga nzibe.
34 Labbaani n'ayogera nti Laba, nandyagadde kibeere ng'ekigambo kyo bwe kiri.
35 N'aggyamu ku lunaku olwo embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, buli eyaliko ebbala ejjeru, n'enzirugavu zonna mu ndiga, n'aziwa mu mukono gw'abaana be;
36 n'assaawo olugendo lwa nnaku ssatu wakati we ne Yakobo; Yakobo n'alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo.
37 Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako enguudo ezitukula, n'alabisa obutukuvu obwali ku buti.
38 N'asimba obuti bw'asasambudde mu maaso g'ebisibo ku mmanvu mu byesero eby'okunywesezaamu ebisibo we byajja okunywa; ne ziwaka amawako bwe zajja okunywa.
39 Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga n'ezabujagijagi n'ezabitanga.
40 Yakobo n'ayawula mu baana, n'atunuza amaaso g'ekisibo eri aba biwuuga, n'eri abaddugavu bonna ab'omu kisibo kya Labbaani; n'ayawulako ebisibo bye, n'atabigatta n'ekisibo kya Labbaani.
41 Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zaawakanga, Yakobo n'ateeka obuti mu maaso g'ekisibo mu byesero, ziwakire awali obuti;
42 naye ekisibo bwe kyabanga ekibi, n'atabussangawo; bwe zityo embi ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi nga ze za Yakobo.
43 Omusajja ne yeeyongera nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi.