Olubereberye
Essuula 2
Ne biggwa okukola eggulu n'ensi n'eggye lyabyo lyonna.
2 Katonda n'amalira ku lunaku olw'omusanvu emirimu gye gye yakola; n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola.
3 Katonda n'awa omukisa olunaku olw'omusanvu n'alutukuza: kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda gye yakola.
4 Bwe lityo ezzadde ery'eggulu n'ensi bwe lyatondebwa, ku lunaku Mukama Katonda lwe yakolerako ensi n'eggulu.
5 Na buli muti ogw'omu nsiko nga tegunnaba kubeerawo mu nsi, na buli muddo ogw'omu nsiko nga tegunnaba kumera: kubanga Mukama Katonda yali nga tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi, so nga tewali muntu alima ensi;
6 naye olufu ne lulinnya okuva mu nsi, ne lutonnya amazzi ku nsi yonna.
7 Mukama Katonda n'abumba omuntu, n'enfuufu y'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu; omuntu n'afuuka omukka omulamu.
8 Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Adeni ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba.
9 Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso omulungi okulya; n'omuti ogw'obulamu wakati mu lusuku, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi.
10 Omugga ne gusibuka mu Adeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gwawukanamu ne gufuuka emitwe ena.
11 Ogw'olubereberye erinnya lyagwo Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavina, erimu zaabu;
12 ne zaabu ey'omu nsi eri nnungi: mulimu bedola n'amayinja sokamu.
13 N'erinnya ly'omugga ogw'okubiri Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi.
14 N'erinnya ly'omugga ogw'okusatu Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'omugga ogw'okuna Fulaati.
15 Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga.
16 Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga:
17 naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako: kubanga olunaku lw'oligulyako tolirema kufa.
18 Mukama Katonda n'ayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n'amukolera omubeezi amusaanira.
19 Mukama Katonda n'akola n'ettaka buli nsolo ey'omu nsiko, na buli ekibuuka waggulu; n'abireetera omuntu, okulaba bw'anaabiyita: n'omuntu buli lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye linnya lyakyo.
20 Omuntu n'abituuma amannya buli nsolo n'ekibuuka waggulu na buli nsolo ey'omu nsiko; naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira.
21 Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo.
22 Mukama Katonda n'azimba olubiriizi, lw'aggye mu muntu, okuba omukazi, n'amuleeta eri omuntu.
23 Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja.
24 Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.
25 Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, so tebaakwatibwa nsonyi.