Olubereberye
Essuula 13
Ibulaamu n'alinnya n'ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo.
2 Era Ibulaamu yalina obugagga bungi, ente, ne ffeeza, ne zaabu.
3 N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiika obwa ddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi;
4 mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye: Ibulaamu n'akaabira eyo erinnya lya Mukama.
5 Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema.
6 Ensi n'etebayinza bombi okutuula awamu: kubanga ebintu byabwe byali bingi, n'okuyinza ne batayinza kutuula wamu.
7 Ne wabaawo empaka eri abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti: era Omukanani n'Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo.
8 Ibulaamu n'agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n'eri abasumba bange n'abasumba bo; kubanga tuli ba luganda.
9 Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw'oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange naagenda ku mukono ogwa kkono.
10 Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodoma ne Ggomola, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, ng'ensi y'e Misiri, ng'ogenda mu Zowaali.
11 Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani; Lutti n'atambula ebuvanjuba: ne baawukana bokka na bokka.
12 Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma.
13 N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama.
14 Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba:
15 kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigiwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna.
16 Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi: era omuntu bw'ayinza okubala enfuufu ey'oku nsi, era n'ezzadde lyo liribalika.
17 Golokoka, otambule obune ensi obuwanvu bwayo n'obugazi bwayo; kubanga ndigiwa ggwe.
18 Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule, egiri mu Kebbulooni, n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama.