Olubereberye

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50

0:00
0:00

Essuula 41

Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota: era, laba, yali ayimiridde ku mugga.
2 Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa.
3 Era, laba, ente endala omusanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne ziyimirira ku mabbali g'omugga awali ente endala.
4 N'ente embi enkovvu ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n'azuukuka.
5 Ne yeebaka n'aloota omulundi ogw'okubiri: era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebigimu ebirungi.
6 Era, laba, ebirimba musanvu ebitono ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba ne bibiddirira ne bimera.
7 Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebigimu ebinene. Falaawo n'azuukuka, era, laba, kibadde kirooto.
8 Awo olwatuuka enkya omwoyo gwe ne gweraliikirira: n'atuma n'ayita abasawo bonna ab'omu Misiri, n'abagezigezi bonna abaamu: Falaawo n'ababuulira ekirooto kye; naye tewaali ayinza okutegeeza Falaawo amakulu gaakyo.
9 Omusenero omukulu n’alyoka agamba Falaawo nti Njijukidde leero okwonoona kwange:
10 Falaawo yasunguwalira abaddu be, n'ansibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu:
11 ne tuloota ekirooto mu kiro kimu nze naye; twaloota buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali.
12 Era yaliyo wamu naffe omulenzi, Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira, n'atutegeeza amakulu g'ebirooto byaffe; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali.
13 Awo olwatuuka, nga bwe yatutegeeza, ne kiba bwe kityo; nze yanziza mu bwami, n'oyo yamuwanika.
14 Falaawo n'alyoka atuma n’ayita Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera: n'amwa, n'awaanyisa ebyambalo bye, n’ayingira eri Falaawo.
15 Falaawo n'agamba Yusufu nti Naloota ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo: era mpulidde nga boogera ku ggwe ng'oyinza okutegeeza amakulu g'ekirooto bw'okiwulira.
16 Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti Si mu nze: Katonda y'anaawa Falaawo okuddamu okw'emirembe.
17 Falaawo n'agamba Yusufu nti Mu kirooto kyange, laba, nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga:
18 era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu, eza ssava ennungi; ne ziriira mu lusa:
19 era, laba, ente musanvu endala ne ziziddirira ne zirinnya, ennafu embi ennyo enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri obubi:
20 ente enkovvu embi ne zirya ente omusaavu eza ssava ezisoose:
21 awo bwe zaamala okuzirya ne kitategeerekeka nga ziziridde; naye nga zikyali mbi ng'olubereberye. Awo ne nzuukuka.
22 Ne ndabira mu kirooto kyange, era, laba, ebirimba musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebinene ebirungi:
23 era, laba, ebirimba musanvu, ebiwotose, ebitono, ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba, ne bibiddirira ne bimera
24 ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebirungi omusanvu: ne nkibuulira abasawo; naye siwali ayinza okukintegeeza.
25 Yusufu n'agamba Falaawo nti Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda by'agenda okukola, yabibuulira Falaawo.
26 Ente omusanvu ennungi gy’emyaka omusaavu; n'ebirimba omusanvu ebirungi gye myaka omusanvu: ekirooto kiri kimu.
27 N'ente omusanvu enkovvu embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba; egyo giriba myaka omusanvu egy'enjala.
28 Ekyo kye kigambo kye mbuulidde Falaawo: Katonda by'agenda okukola, yabiraga Falaawo.
29 Laba, girijja emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri:
30 oluvannyuma lw'egyo giribaawo emyaka musanvu egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi;
31 n'ekyengera tekirimanyibwa mu nsi olw'enjala erikiddirira; kubanga eriba nnyingi nnyo.
32 Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu.
33 Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukabakaba ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri.
34 Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu egy'ekyengera.
35 Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, baterekere eŋŋaano mu bibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume.
36 N'emmere eyo eriba eggwanika ery'ensi olw'emyaka omusanvu egy'enjala, egiribaawo mu nsi ey'e Misiri; ensi ereme okufa enjala.
37 N'ekigambo ekyo kyali kirungi mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be bonna.
38 Falaawo n'agamba abaddu be nti Tuliyinza okulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda?
39 Falaawo n'agamba Yusufu nti Kubanga Katonda akulaze ebyo byonna, tewali mukabakaba era ow'amagezi nga ggwe:
40 gw'olifuga ennyumba yange, era ng'ekigambo kyo bwe kiri abantu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka mu ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu.
41 Falaawo n’agamba Yusufu nti Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri.
42 Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'anaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.
43 N'amutambuliza mu ggaali ery'okubiri lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n'amuwa okufuga ensi yonna ey'e Misiri.
44 Falaawo n'agamba Yusufu nti Nze ndi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna eye Misiri.
45 Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri.
46 Era Yusufu yali yaakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso ga Falaawo kabaka we Misiri. Yusufu n'ava eri Falaawo, n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri.
47 Ne mu myaka omusanvu egy'ekyengera ensi n'ebala emmere mu bungi.
48 N'akuŋŋaaayanga emmere yonna ey'emyaka omusanvu egyabaawo mu nsi ey'e Misiri, n’aterekeranga emmere mu bibuga: emmere ey'omu nnuniro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga mu ekyo.
49 Yusufu n'atereka eŋŋaano ng'omusenyu ogw'ennyanja, nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika.
50 Abaana babiri ne bazaalirwa Yusufu omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka, Asenaansi omwana wa Potiferi kabona owe Oni be yamuzaalira.
51 Yusufu n'atuuma omubereberye erinnya Manase: nti Kubanga Katonda anneerabizza okutegana kwange n'ennyumba ya kitange yonna.
52 N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu: nti Kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey'okubonaabona kwange.
53 Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako.
54 Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri.
55 Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere: Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mukolenga bwe mutyo.
56 Enjala n'ebuna ensi zonna: Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri; enjala n'eba nnyingi mu nsi ey'e Misiri.
57 N'ab'ensi zonna ne bajjira Yusufu mu Misiri okugula eŋŋaano; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna.