Olubereberye
Essuula 35
Katonda n'agamba Yakobo nti Golokoka, oyambuke e Beseri, otuule eyo: ozimbire eyo ekyoto eri Katonda, eyakulabikira bwe wadduka amaaso ga Esawu muganda wo.
2 Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, muwaanyise ebyambalo byammwe:
3 tugolokoke, twambuke e Beseri: nange ndizimbira eyo ekyoto eri Katonda, eyanziramu ku lunaku olw'okweraliikirira kwange, era eyabanga nange mu kkubo lye nnatambuliramu.
4 Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna abaali mu mukono gwabwe, n'empeta ezaali mu matu gaabwe; Yakobo n'abikweka wansi w'omwera ogwali mu Sekemu.
5 Ne batambula: n'entiisa ennyingi n'egwa ku bibuga ebyabeetooloola, ne batagoberera baana ba Yakobo.
6 Awo Yakobo n'atuuka e Luzi, ekiri mu nsi ya Kanani (ye Beseri), ye n'abantu bonna abaali naye.
7 N'azimbira eyo ekyoto, n'ayita ekifo Erubeseri: kubanga eyo Katonda gye yamubikkulirwa, bwe yadduka amaaso ga muganda we.
8 Debola, omulezi wa Lebbeeka, n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera: ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.
9 Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n’amuwa omukisa.
10 Katonda n'amugamba nti Erinnya lyo Yakobo: erinnya lyo tokyayitibwa nate Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo: n'amutuuma erinnya Isiraeri.
11 Katonda n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna: oyale weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;
12 n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo ndiriwa ensi.
13 Katonda n'ava gy'ali n'alinnya, mu kifo mwe yayogerera naye.
14 Yakobo n'asimba empagi mu kifo mwe yayogerera naye, empagi ey'amayinja: n'agifukako ekiweebwayo ekyokunywa, n'agifukako amafuta.
15 Yakobo n'atuuma ekifo Katonda mwe yayogerera naye erinnya lyakyo Beseri.
16 Ne bava mu Beseri ne batambula; baali babulako ekiseera batuuke e Efulasi: Laakeeri n'ayagala okuzaala, n'alumwa nnyo.
17 Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.
18 Awo olwatuuka, obulamu bwe bwali nga bunaatera okugenda (kubanga yafa), n'amutuuma erinnya Benoni: naye kitaawe n'amutuuma Benyamini.
19 Laakeeri n'afa, ne bamuziika mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu).
20 Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge: eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero.
21 Isiraeri n'atambula, n’asimba eweema ye ng'ayise ku kigo kya Ederi.
22 Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe: Isiraeri n'akiwulirako. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri:
23 abaana ba Leeya; Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni:
24 abaana ba Laakeeri; Yusufu, ne Benyamini:
25 n'abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri; Ddaani ne Nafutaali:
26 n'abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya; Gaadi ne Aseri: abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.
27 Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe mu Mamule, mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
28 N'ennaku za Isaaka zaali myaka kikumi mu kinaana.
29 Isaaka n'ata omukka, n'afa, n'atwalibwa eri abantu be, ng'akaddiye, ng'awezezza ennaku nnyingi: Esawu ne Yakobo abaana be ne bamuziika.