Olubereberye
Essuula 44
N'alagira omuwanika w'ennyumba ye, ng'ayogera nti jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye.
2 Era teeka ekikompe kyange, ekikompe ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, n'effeeza ye ey'eŋŋaano. N'akola ng'ekigambo bwe kibadde Yusufu ky'ayogedde.
3 Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, bo n'endogoyi zaabwe.
4 Bwe baamala okuva mu kibuga, nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti Golokoka, ogoberere abasajja; bw'onoobatuukako, bagambe nti Kiki ekibawalanyizza ebibi olw'obulungi?
5 Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anywesa, era n'okulagula ky'alaguza? mwakoze bubi bwe mwakoze bwe mutyo.
6 N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo.
7 Ne bamugamba nti Kiki ekyogezezza mukama wange ebigambo ebiriŋŋanga ebyo? Kitalo abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo.
8 Laba, effeeza gye twalaba mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli okuva mu nsi ya Kanani: kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?
9 Buli anaalabika ku baddu bo ng'ali nakyo, afe, era naffe; tunaaba abaddu ba mukama wange.
10 N'ayogera nti Kale nno kaakano kibe ng'ebigambo byammwe bwe biri: anaalabika ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe temuubeeko musango.
11 Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye.
12 N'anoonya, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto: ekikompe ne kirabikira mu nsawo ya Benyamini.
13 Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, ne bateeka ebintu buli muntu ku ndogoyi ye ne baddayo mu kibuga.
14 Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu; ne bamusanga ng'akyaliyo: ne bavuunama mu maaso ge.
15 Yusufu n'abagamba nti Kikolwa ki kino kye mukoze? temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala?
16 Yuda n'ayogera nti Tunaagamba tutya mukama wange? tunaayogera tutya? oba tunaawoza tutya? Katonda akebedde obutali butuukirivu bw'abaddu bo: laba, tuli baddu ba mukama wange, ffe era n'oyo alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe.
17 N'ayogera nti Kitalo nze okukola bwe ntyo: omusajja alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe ye anaaba omuddu wange; naye mmwe, mwambuke mugende eri kitammwe n'emirembe.
18 Yuda n'alyoka amusemberera n'ayogera nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, omuddu wo ayogere ekigambo mu matu ga mukama wange, so obusungu bwo buleme okubuubuukira omuddu wo: kubanga oliŋŋanga, Falaawo ddala.
19 Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti Mulina kitammwe, oba muganda wammwe?
20 Naffe ne tugamba mukama wange nti Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala.
21 Naawe n'ogamba abaddu bo nti Mumundeetere, mmukubeko amaaso.
22 Ne tugamba mukama wange nti Omulenzi tayinza kuleka kitaawe: kuba bw'alireka kitaawe, kitaawe alifa.
23 N'ogamba abaddu bo nti Mwana wa bommwe bw'ataliserengeta nammwe, temuliraba nate maaso gange.
24 Awo olwatuuka bwe twayambuka ne tujja eri omuddu wo kitange, ne tumubuulira ebigambo bya mukama wange.
25 Kitaffe n'ayogera nti Muddeeyo nate, mutugulire akamere.
26 Naffe ne twogera nti Tetuyinza kuserengeta: omwana wa boffe bw'anaabeera awamu naffe, tuliserengeta: kubanga tetuyinza kulaba maaso ga musajja, omwana wa boffe wabula ng'ali wamu naffe.
27 Omuddu wo kitange n'atugamba nti Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri:
28 omu n'ava gye ndi, ne njogera nti Mazima yataagulwataagulwa; nange sikyamulabako:
29 era bwe munanziyako n'oyo, akabi ne kamubaako, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala.
30 Kale kaakano bwe ndijja eri omuddu wo kitange, n'omulenzi nga tali wamu naffe; kubanga obulamu bwe busibiddwa n'obulamu bw'omulenzi;
31 olulituuka bw'aliraba ng'omulenzi taliiwo, alifa: n'abaddu bo baliserengesa envi z'omuddu wo kitaabwe mu magombe olw'okunakuwala.
32 Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitange nga njogera nti Bwe sirimuleeta gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitange ennaku zonna.
33 Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be.
34 Kubanga ndyambuka ntya eri kitange, n'omulenzi nga tali wamu nange? nneme okulaba akabi akalituuka ku kitange.