Olubereberye
Essuula 24
Ibulayimu yali akaddiye, ng'ayitiridde obukadde: era Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna.
2 Ibulayimu n'agamba omuddu we, omukulu w'ennyumba ye, eyafuganga byonna bye yalina, nti Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange;
3 nange naakulayiza Mukama, Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu:
4 naye oligenda mu nsi yange, era eri baganda bange, omuwasize omwana wange Isaaka omukazi.
5 Omuddu n'amugamba nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange okutuuka mu nsi eno: kiriŋŋwanira okuzza omwana wo mu nsi gye wavaamu?
6 Ibulayimu n'amugamba nti Tozzangayo mwana wange n'akatono.
7 Mukama, Katonda w'eggulu, eyanziya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno; oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo.
8 N'omukazi bw'aliba nga takkirizza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; kino kyokka, obutamuzzaayo mwana wange.
9 Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo.
10 Omuddu n'atwala eŋŋamira kkumi, ez'omu ŋŋamira za mukama we, ne yeegendera; ng'alina ebintu byonna ebirungi ebya mukama we mu ngalo ze: n'agolokoka, n'agenda mu Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli.
11 N'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga awali oluzzi lw'amazzi obudde nga buwungeera, obudde nga butuuse abakazi we baafulumi ranga okusena amazzi.
12 N'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.
13 Laba, nnyimiridde ku nsulo z'amazzi; n'abaana abawala b'ab'omu kibuga bafuluma okusena amazzi:
14 kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng'olaze ekisa mukama wange.
15 Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika; mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye.
16 N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka.
17 Omuddu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'ayogera nti Onnywese, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo.
18 N'ayogera nti Nywa, mukama wange: n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe, n’amunywesa.
19 Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute.
20 N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'addukana nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna.
21 Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo Iwe omukisa oba nga tawadde.
22 Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi eza zaabu;
23 n'ayogera nti Ggwe oli mwana w'ani? mbuulira, nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo?
24 N'amugamba nti Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli.
25 Era nate n'amugamba nti Tulina essubi era n'ebyokulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu
26 Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama.
27 N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.
28 Omuwala n'addukana, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri.
29 Era Lebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labbaani: Labbaani, n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi.
30 Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwaanyina, ng'ayogera nti Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye; n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo.
31 N'ayogera nti Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? kubanga nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira.
32 Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'awa essubi n'ebyokulya eby'eŋŋamira, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye.
33 Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa. N'ayogera nti Yogera.
34 N'ayogera nti Nze ndi muddu wa Ibulayimu
35 Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi.
36 Ne Saala mukazi wa mukama wange n’azaalira mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye: era oyo n'amuwa. byonna by'alina.
37 Ne mukama wange n'andayiza, ag'ayogera nti Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe:
38 naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi.
39 Ne ŋŋamba mukama wange nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange.
40 N'aŋŋamba nti Mukama, gwe ntambulira, mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aIiwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange:
41 bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange.
42 Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda:
43 laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti Ompe, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe:
44 naye anaŋŋnamba nti nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange.
45 Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n’asena: ne mmugamba nti Nnywe, nkwegayiridde.
46 N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo: ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira.
47 Ne mmubuuza ne njogera nti Ggwe oli mwana w'ani? N'ayogera nti Mwana wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira: ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'emisagga ku mikono gye.
48 Ne nkutama, ne nsinza Mukama, ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo lyennyini okuwasiza omwana we omwana wa mwannyina mukama wange.
49 Ne kaakaano bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire; era bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono.
50 Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama: tetuyinza kukubuulira bibi newakubadde ebirungi.
51 Laba, Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama aga bw'ayogedde.
52 Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawuiira ebigambo ebyo, n'avuunama eri Mukama,
53 Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'amakula aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lebbeeka: era n'awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby'omuwendo omungi.
54 Ne balya ne banywa; ye n'abasajja abaali naye, ne basula ne bakeesa obudde; ne bagolokoka enkya, n'ayogera nti Munsiibule ŋŋende eri mukama wange.
55 Ne mwannyina ne nnyina ne boogera nti Omuwala abeere naffe amale ennaku si nnyingi, ekkumi oba kusingawo; alyoke agende.
56 N'abagamba nti Tondwisa, kubanga Mukama awadde omukisa olugendo lwange; munsiibule ŋŋende eri mukama wange.
57 Ne boogera nti Tunaayita omuwala, tumubuuze mu kamwa ke.
58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamugamba Onoogenda n'omusajja ono? N'ayogera nti Nnaagenda.
59 Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulenzi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be.
60 Ne basabira Lebbeeka omukisa, ne bamugamba nti Mwannyinaffe, beeranga nnyina w’abantu obukumi enkumi n’ezzadde lyo liryenga omulyango gw’abo ababakyawa.
61 Lebbeeka n’agolokoka n’abazaana be, ne beebagala ku ŋŋamira ne bagenda n’omusajja: omuddu n’atwala Lebeeka ne yeegendera.
62 Isaaka najja ng’ava mu kkubo ery’e Beerirakairoi: kubanga yali atuula mu nsi ey’obukiika obwa ddyo.
63 Isaaka n'afuluma okufumiitiriza mu nnimiro akawungeezi : n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, eŋŋamira nga zijja.
64 Lebbeeka n'ayimusa amaaso ge, era bwe yalaba Isaaka, n'ava kuŋŋamira.
65 N'agamba omuddu nti Musajja ki oyo atambulira mu ninniro okutusisinkaana? Omuddu n’ayogera nti Ye mukama wange: n’addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako.
66 Omuddu n’abuulira Isaaka byonna bye yakola
67 Isaaka n'amuleeta mu nnyumba ya nnyina Saala, n'awasa Lebbeeka, n'aba mukazi we; n'amwagala: Isaaka n'asanyusibwa nnyina bwe yamala okufa.