Olubereberye
Essuula 19
Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw'e Sodoma: Lutti n'abalaba, n'agolokoka okubasisinkana; n'avuunama amaaso ge
2 n'ayogera nti Laba nno, bakama bange, mwekooloobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey'omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, munaabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka, mwegendere. Ne boogera nti Nedda; naye tunaasula mu luguudo okukeesa obudde.
3 N'abawaliriza nnyo; ne beekooloobya ewuwe, ne bayingira mu nyumba ye; n'abafumbira embaga, n'ayokya omugaati ogutazimbulukuswa, ne, balya.
4 Naye nga tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga, ab'e Sodoma, ne bazingiza ennyumba, abato era n'abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna:
5 ne bayita Lutti, ne bamugamba nti Abasajja bali ludda wa abayingidde ewuwo ekiro kino? obafulumye gye tuli, tubamanye.
6 Lutti n'afuluma gye bali mu mulyango, n'aggalawo oluggi ennyuma we.
7 N'ayogera nti Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano.
8 Laba nno, nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye abo gye muli, mbeegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w'ekisiikirize eky'akasolya kange.
9 Ne boogera nti Vaawo. Ne boogera nti Olusajja luno lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunakukola ggwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye Lutti, ne basembera okumenya oluggi.
10 Naye abasajja ne bagolola emikono, ne bayingiza Lutti mu nnyumba mwe baali, ne baggalawo oluggi.
11 Ne bazibya amaaso g'abasajja abaali ku luggi, abato era n'abakulu: n'okwekooya ne beekooya nga banoonya oluggi.
12 Abasajja ne bagamba Lutti nti Olina nate wano abalala? mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno:
13 kubanga tunaazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza.
14 Lutti n'afuluma n'ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, n'agamba nti Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yaliŋŋanga asaaga eri bakoddomi be.
15 Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.
16 Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw'abaana be abawala bombi; Mukama ng'amusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w'ekibuga.
17 Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n'ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa.
18 Lutti n'abagamba nti Nedda, mukama wange, nkwegayiridde:
19 laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo, kw'ondaze ng'omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntuukako ne nfa:
20 laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, (si kitono?), n'obulamu bwange buliwona.
21 N'amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kigambo ekyo, obutasuula kibuga ky'oyogeddeko.
22 Yanguwako, oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly'ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali.
23 Enjuba yali ng'emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe yatuuka mu Zowaali.
24 Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'ekibiriiti nga biva mu ggulu;
25 n'asuula ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, n'abo bonna abaatuulanga mu bibuga, n'ebyo ebyamera ku ttaka.
26 Naye mukazi we n'atunula ennyuma we ng'amuvaako ennyuma, n'afuuka empagi ey'omunnyo.
27 Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya n'agenda mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga, Mukama:
28 n'atunuulira e Sodoma n'e Ggomola, n'eri ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera, era, laba, omukka ogw'ensi ne gunyooka ng'omukka ogw'ekikoomi.
29 Awo, Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Katonda n'ajjukira Ibulayimu n'asindika Lutti ave wakati mu bibuga ebyasuulibwa, bwe yasuula ebibuga Lutti mwe yali atuula.
30 Lutti n'alinnya n'ava mu Zowaali, n'atuula ku lusozi, n'abaana be abawala bombi naye; kubanga n'atya okutuula mu Zowaali: n'atuula mu mpuku, n'abaana be abawala bombi.
31 N'omubereberye n'agamba omuto nti Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi aliyingira gye tuli ng'empisa y'ensi zonna bw'eri:
32 kale, tunywese kitaffe omwenge, naffe tunaasula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.
33 Ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'asula ne kitaawe; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka.
34 Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti Laba, ekiro nasuze ne kitange: era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe n'oyingira, n'osula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.
35 Era ne banywesa kitaabwe omwenge n'ekiro ekyo: omuto n'agolokoka, n'asula naye; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka.
36 Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe.
37 Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu: oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano.
38 Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami: oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano.