Olubereberye

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50

0:00
0:00

Essuula 33

Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi.
2 N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'aviisaako ennyuma Laakeeri ne Yusufu.
3 Naye ye yennyini n'akulembera mu maaso gaabwe, n'avuunama emirundi musanvu, okutuusa bwe yasemberera muganda we.
4 Esawu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga.
5 N'ayimusa amaaso ge, n’alaba abakazi n’abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa.
6 Abazaana ne balyoka basembera, bo n'abaana baabwe, ne bavuunama.
7 Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama: Yusufu ne Laakeeri ne balyoka basembera, ne bavunama.
8 N'ayogera nti Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo kiki? N'ayogera nti Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange.
9 Esawu n'ayogera nti Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo.
10 Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.
11 Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala.
12 N'ayogera nti Tukwate ekkubo tugende, nange naakukulembera.
13 N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byonna birifa.
14 Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naagenda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri.
15 Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange.
16 Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo ng'agenda e Seyiri.
17 Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo kyeriva liyitibwa Sukkosi.
18 Yakobo n'atuuka mirembe mu kibuga kya Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, bwe yava mu Padanalaamu; n'asiisira mu maaso g'ekibuga.
19 N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukono gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi.
20 N'asimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.