Olubereberye
Essuula 11
N'ensi zonna zaalina olulimi lumu n'enjogera emu.
2 Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo.
3 Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'ennoni.
4 Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n'ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.
5 Mukama n'akka okulaba ebibuga n'ekigo, abaana b'abantu bye bazimba.
6 Mukama n'ayogera nti Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna baalina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola.
7 Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka.
8 Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga.
9 Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna: n'okuva eyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.
10 Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu yali yaakamaze emyaka kikumi, n'azaala Alupakusaadi amataba nga gaakamaze emyaka ebiri okubaawo:
11 Seemu n'awangaala bwe yamala okuzaala Alupakusaadi emyaka bitaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
12 Alupakusaadi n'amala emyaka asatu mu etaano, n'azaala Seera:
13 Alupakusaadi n'awangaala bwe yamala okuzaala Seera emyaka bina mu esatu, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14 Seera n'amala emyaka asatu, n'azaala Eberi:
15 Seera n'awangaala bwe yamala okuzaala Eberi emyaka bina mu esatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
16 Eberi n'amala emyaka asatu mu ena, n'azaala Peregi:
17 Ebezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Peregi emyaka bina mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
18 Peregi n'amala emyaka asatu, n'azaala Leewo:
19 Peregi n'awangala bwe yamala okuzaala Leewo emyaka bibiri mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20 Leewo n'amala emyaka asatu mu ebiri, n'azaala Serugi;
21 Leewo n'awangaala bwe yamala okuzaala Serugi emyaka bibiri mu musanvu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
22 Serugi n'amala emyaka asatu, n'azaala Nakoli:
23 Serugi n'awangaala bwe yamala okuzaala Nakoli, emyaka bibiri, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
24 Nakoli n'amala emyaka abiri mu mwenda, n'azaala Teera:
25 Nakoli n'awangaala bwe yamala okuzaala Teera emyaka kikumi mu kkumi mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
26 Teera n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani.
27 Era kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti.
28 Kalani n'afiira awali kitaawe mu nsi mwe yazaalirwa, mu Uli, y'ensi ey'Abakaludaaya.
29 Ne Ibulaamu ne Nakoli ne beewasiza abakazi: omukazi wa Ibulaamu erinnya lye Salaayi; n'omukazi wa Nakoli erinnya lye Mirika, omwana wa Kalani, ye kitaawe wa Mirika, era kitaawe wa lsika.
30 Era Salaayi yali mugumba; teyalina mwana.
31 Teera n'atwala Ibulaamu omwana we, ne Lutti, omwana wa Kalani, omuzzukulu we, ne Salaayi muka mwana we, omukazi w'omwana we Ibulaamu; ne bavaayo nabo mu Uli, ye ensi ey'Abakaludaaya, okuyingira mu nsi ya Kanani; ne batuuka e Kalani, ne batuula eyo.
32 N'ennaku za Teera zaali emyaka bibiri mu etaano: Tera n'afiira mu Kalani.