Olubereberye
Essuula 10
Ne kuno kwe kuzaala kw'abaana ba Nuuwa, Seemu, Kaamu ne Yafeesi: abaana ne babazaalirwa amataba nga gamaze okubaawo.
2 Abaana ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
3 N'abaana ba Gomeri: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4 N'abaana ba Yavani: Erisa, ne Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu.
5 Abo be baagabirwa ebizinga eby'amawanga mu nsi zaabwe, buli muntu ng'olulimi lwe bwe lwali; ng'ebika byabwe bwe byali, mu mawanga gaabwe.
6 N'abaana ba Kaamu: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani.
7 N'abaana ba Kuusi: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka: n'abaana ba Laama: Seeba, ne Dedani.
8 Kuusi n'azaala Nimuloodi; n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi.
9 Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso ga Mukama.
10 N'okusooka kw'obwakabaka bwe kwali Baberi, ne Ereki, ne Akudi, ne Kalune, mu nsi Sinali.
11 N'ava mu nsi omwo n'agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala,
12 ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala (ekyo kye kibuga ekinene).
13 Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
14 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti), ne Kafutolimu.
15 Kanani n'azaala Zidoni omubereberye we, ne Keesi,
16 n'Omuyebusi, n'Omwamoli, n'Omugirugaasi;
17 n'Omukiivi, n'Omwaluki, n'Omusiini;
18 n'Omwaluvada, n'Omuzemali, n'Omukamasi; n'ebika eby'Omukanani ne biddirira abo okubuna.
19 N'ensalo ey'Omukanani yava mu Zidoni, ng'ogenda e Gerali, n'etuuka ku Gaza; era yatuuka ku Lasa, ng'ogenda e Sodoma ne Ggomola ne Aduma ne Zeboyimu.
20 Abo be baana ba Kaamu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, mu mawanga gaabwe.
21 Era ne Seemu, jjajja w'abaana bonna aba Eberi, muganda wa Yafeesi omukulu, naye n'azaalirwa abaana.
22 Abaana ba Seemu: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi ne Ludi, ne Alamu.
23 N'abaana ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri, ne Masi.
24 Ne Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi.
25 Eberi n'azaalirwa abaana babiri: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi zonna mwe zaagabirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani.
26 Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera;
27 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;
28 ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba;
29 ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu: abo bonna baana ba Yokutaani.
30 N'ensi gye baatuulamu yava ku Mesa, ng'ogenda e Serali, olusozi olw'ebuvanjuba.
31 Abo be baana ba Seemu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, amawanga gaabwe nga bwe gaali.
32 Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe: era mu abo mwe gaava amawanga okwawulirwa mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.