Olubereberye
Essuula 8
Katonda n'ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n'aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka;
2 era n'ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa, enkuba ey'omu ggulu n'eziyizibwa;
3 amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku ekikumi mu ataano bwe zaayitawo.
4 Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi eryato ne lituula ku nsozi za Alalati.
5 Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi: mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi entikko z'ensozi ne zirabika.
6 Awo oluvannyuma lw'ennaku amakumi ana Nuuwa n’asumulula ekituli eky'eryato kye yakola:
7 n'atuma namuŋŋoona n'afuluma n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi.
8 N'atuma ejjiba okuva w'ali alyoke alabe ng'amazzi gaweebuuse kungulu ku nsi;
9 naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali kungulu ku nsi yonna: n'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mw'ali mu lyato.
10 N'ayosaawo ennaku musanvu nate; nate n'atuma ejjiba okuva mu lyato;
11 ejjiba ne likomawo olw'eggulo mw'ali; laba, mu kamwa kaalyo ne muba akalagala akabisi ak'omuzeeyituuni: Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi.
12 N'ayosaawo ennaku musanvu nate; n'atuma ejjiba; awo oluvannyuma teryakomawo nate gy'ali.
13 Awo mu mwaka ogw'olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n'aggyako ekyasaanikira eryato, n'atunuulira, laba, kungulu ku nsi nga kukalidde.
14 Mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri mu musanvu olw'omwezi, ensi n'ekalira.
15 Katonda n'agamba Nuuwa nti
16 Va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n’abaana bo, n'abakazi b'abaana bo, awamu naawe.
17 Ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n'ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi.
18 Nuuwa n'afuluma, n'abaana be ne mukazi we n'abakazi b'abaana be awamu naye:
19 buli nsolo, buli ekyewalula, na buli ekibuuka, buli ekitambula kyonna ku nsi, mu bika byabyo, ne bifuluma mu lyato.
20 Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto.
21 Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze.
22 Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.