Olubereberye
Essuula 36
N'okuzaala kwa Esawu (ye Edomu) kwe kuno.
2 Esawu yawasa ku bawala ba Kanani; Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana, omuwala wa Zibyoni Omukiivi;
3 ne Basimansi omuwala wa Isimaeri, muganda wa Nebayoosi.
4 Ada n'azaalira Esawu Erifaazi; ne Basimansi n'azaala Leweri:
5 ne Okolibama n'azaala Yewusi, ne Yalamu, ne Koola: abo be batabani ba Esawu, abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
6 Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be, n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisibo bye n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna, bye yakuŋŋaanyiza mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala n'abeera wala ne muganda we Yakobo.
7 Kubanga ebintu byabwe byali bingi bwe biti n'okuyinza tebaayinza kutuula wamu; n'ensi gye baatuulamu teyabayinza olw'ebisibo byabwe.
8 Esawu n'atuula ku lusozi Seyiri: Esawu ye Edomu.
9 N'olulyo lwa Esawu jjajja wa Abaedomu abaali ku lusozi Seyiri lwe luno:
10 batabani ba Esawu amannya gaabwe ge gano: Erifaazi omwana wa Ada omukazi wa Esawu, Leweri omwana wa Basimansi omukazi wa Esawu.
11 Ne batabani ba Erifaazi Temani, Omali, Zefo, ne Gatamu, ne Kenazi.
12 Ne Timuna yali muzaana wa Erifaazi omwana wa Esawu; n'azaalira Erifaazi Amaleki; abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu.
13 N'abaana ba Leweri baabano; Nakasi, ne Zeera, Samma, ne Mizza: abo be baali abaana ba Basimansi omukazi wa Esawu.
14 N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, omwana wa Zibyoni, omukazi wa Esawu: n'azaalira Esawu Yewusi, ne Yalamu, ne Koola.
15 Abaana ba Esawu abaalya obwami baabano: abaana ba Erifaazi omubereberye wa Esawu; omukungu Temani, omukungu Omali, omukungu Zefo, omukungu Kenazi,
16 omukungu Koola, omukungu Gatamu, omukungu Amaleki: abo be bakungu abaava mu Erifaazi mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Ada.
17 N'abaana ba Leweri omukungu wa Esawu baabano; omukungu Nakasi, omukungu Zeera, omukungu Samma, omukungu Mizza: abo be bakungu abaava mu Leweri mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Basimansi omukazi wa Esawu.
18 N'abaana ba Okolibama omukazi wa Esawu baabano; omukungu Yewusi, omukungu Yalamu, omukungu Koola: abo be bakungu abaava mu Okolibama omuwala wa Ana, mukazi wa Esawu.
19 Abo be baana ba Esawu, n'abo be bakungu baabwe: oyo ye Edomu.
20 Abaana ba Seyiri Omukooli, be baatuulanga mu nsi, baabano; Lotani ne Sobali ne Zibyoni ne Ana,
21 ne Disoni ne Ezeri ne Disani: abo be baami abaava mu Bakoli, be baana ba Seyiri mu nsi ya Edomu.
22 N'abaana ba Lotani be bano Koli ne Kemamu; ne mwannyina Lotani ye Timuna.
23 N'abaana ba Sobali baabano; Aluvani ne Manakasi ne Ebali, Sefo ne Onamu.
24 N'abaana be Zibyoni baabano; Aya ne Ana: Ana ye oyo eyalaba enzizi z'amazzi agabuguma mu ddungu, bwe yali alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe.
25 N'abaana ba Ana baabano; Disoni ne Okolibama omuwala wa Ana.
26 N'abaana ba Disoni baabano; Kemudaani ne Esubani ne Isulani ne Kerani.
27 Abaana ba Ezeri baabano; Birani ne Zaavani ne Akani.
28 Abaana ba Disani baabano; Uzi ne Alani.
29 Abaami abaava mu Bakooli baabano; omwami Lotani, omwami Sobali, omwami Zibyoni, omwami Ana,
30 omwami Disoni, omwami Ezeri, omwami Disani: abo be baami abaava mu Bakoli, ng'abaami baabwe bwe baali mu nsi ya Seyiri.
31 Ne bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu, nga tewannafuga kabaka yenna abaana ba Isiraeri, baabano.
32 Bera omwana wa Byoli n'afuga mu Edomu; n'ekibuga kye erinnya lyakyo Dinukaba.
33 Bera n'afa, Yobabu omwana wa Zeera ow'e Bozula n'alya obwakabaka mu kifo kye.
34 Yobabu n'afa, Kusamu ow'ensi ya Abatemami n'alya obwakabaka mu kifo kye.
35 Kusamu n'afa, Kadadi omwana wa Bedadi, eyakuba Midiyaani mu nnimiro ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Avisi.
36 Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'alya obwakabaka mu kifo kye.
37 Samula n'afa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiriraana n'omugga n'alya obwakabaka mu kifo kye.
38 Sawuli n'afa, Baalukanani omwana wa Akubooli n'alya obwakabaka mu kifo kye.
39 Baalukanani omwana wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Pawu; ne mukazi we erinnya lye Meketaberi, omwana wa Matuledi, omwana wa Mezakabu.
40 N'amannya g'abaami abaava mu Esawu, ng'ebika byabwe, n'ebifo byabwe, n'amannya gaabwe bwe biri, gaagano; omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yesesi;
41 omwami Okolibama, omwami Era, omwami Pinoni;
42 omwami Kenazi, omwami Temani, omwami Mibuzali;
43 omwami Magudyeri, omwami Iramu: abo be baami ba Edomu, nga bwe baatuulanga mu nsi ey'obutaka bwabwe. Oyo ye Esawu jjajja wa Abaedomu.