Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 8

Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, baliggya amagumba ga bassekabaka ba Yuda n'amagumba g'abakungu be n'amagumba ga bakabona n'amagumba ga bannabbi n'amagumba g'abo abali mu Yerusaalemi mu malaalo gaabwe.
2 Kale baligaaliira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'eggye lyonna ery'omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga: tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba busa ku maaso g'ettaka.
3 Era okufa kulyagalibwa okusinga obulamu eri bonna abafisseewo abasigalawo ku kika kino ekibi, abasigalawo mu bifo byonna gye nnabagobera, bw'ayogera Mukama w'eggye.
4 Era nate obagambanga nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Abantu baligwa ne batayimuka nate? omuntu alikyama n'atadda?
5 Kale abantu bano ab'omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza ennyuma nga baseeseetuka obutayosa? banywezezza obulimba, bagaanyi okudda.
6 Nawuliriza ne mpulira, naye tebaayogera bya nsonga: tewali muntu eyeenenya obubi bwe ng'ayogera nti Nkoze ki? buli muntu akyukira mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutukira mu lutalo.
7 Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama.
8 Mwogera mutya nti Tulina amagezi, n'amateeka ga Mukama gali naffe? Naye, laba, ekkalaamu ey'obulimba ey'abawandiisi ewandiise ebitali bya mazima.
9 Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa: laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?
10 Kyendiva mbawa abalala bakazi baabwe n'ennimiro zaabwe eri abo abalizirya: kubanga buli muntu, omuto era n'omukulu, wa mululu, nnabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya.
11 Era bawonyezza ekiwundu eky'omuwala w'abantu bange kungulu kwokka nga boogera nti Mirembe, mirembe; so nga emirembe tewali.
12 Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky'omuzizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwa mu abo abagwa: mu biro mwe balijjirwa mwe balimeggerwa, bw'ayogera Mukama.
13 Ndibamalirawo ddala, bw'ayogera Mukama: ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n'amalagala galiwotoka; n'ebintu bye nnabawa biribavaako.
14 Kiki ekitutuuza obutuuza? mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tusirikire eyo: kubanga Mukama Katonda waffe atusirisizza, era atunywesezza amazzi ag'omususa, kubanga twayonoona Mukama.
15 Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby'okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa!
16 Okufugula kw'embalaasi ze kuwuliddwa ng'oyima e Ddaani: olw'eddoboozi ery'okukaaba kw'ensolo ze ez'amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n'abo abakituulamu.
17 Kubanga, laba, ndisindika emisota, amasalambwa, agatalogeka; era galibaluma, bw'ayogera Mukama.
18 Woowe, singa nnyinza okwesanyusa mu buyinike! omutima gwange guweddemu amaanyi munda yange.
19 Laba, eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'omuwala w'abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo? Lwaki bo okunsunguwazanga n'ebifaananyi byabwe ebyole n'ebirerya ebiggya?
20 Ebikungulwa biwedde, ekyeya kiyise, naffe tetulokose.
21 Kubanga omuwala w'abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu: nzirugadde; okusamaalirira kunkutte.
22 Teri ddagala mu Gireyaadi? teri musawo eyo? kale kiki ekirobedde omuwala w'abantu bange okuwona?