Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 45

Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya bwe yawandiika ebigambo bino mu kitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, eri ggwe, ai Baluki, nti
3 Wayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna.
4 Bw'oti bw'oba omugamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kge nnasimba ndikisimbula; era ndikola bwe ntyo mu nsi yonna.
5 Era weenoonyeza ebikulu? tobinoonya: kubanga, laba, ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw'ayogera Mukama: naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy'onoogendanga.