Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 49

Eby'abaana ba Amoni. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri talina baana ba bulenzi? talina musika? kale Malukamu kiki ekimuliisizza Gaadi, n'abantu be batuula mu bibuga byayo?
2 Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma nga bazirayiza Labba eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, ne bawala baamu balyokebwa omuliro: kale Isiraeri lw'alirya abo abaamulyanga, bw'ayogera Mukama.
3 Wowoggana, ggwe Kesubooni, kubanga Ayi kinyagiddwa; mukaabe, mmwe abawala ba Labba, mwesibe ebibukutu, mukungubage, mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate; kubanga Malukamu aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu.
4 Lwaki ggwe okwenyumiririza ebiwonvu, ekiwonvu kyo ekikulukuta, ai omuwala adda ennyuma? eyeesiganga eby'obugagga bwo ng'ayogera nti Ani alijja gye ndi?
5 Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu okuviiramu ddala, so tewaliba wa kuluŋŋamya oyo awaba.
6 Naye oluvannyuma ndikomyawo obusibe bw'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama.
7 Ebya Edomu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Amagezi tegakyali mu Temani? okuteesa kubuze abakabakaba? amagezi gaabwe gagenze?
8 Mudduke mukyuke okudda ennyuma, mwekise wansi, mmwe abatuula mu Dedani; kubanga ndimuleetako obuyinike bwa Esawu, ebiro lwe ndimujjira.
9 Abanozi b'ezabbibu singa bazze gy'oli, tebandirese zabbibu ezimu ez'okwerebwa? ababbi singa bazze kiro, tebandizikirizza okutuusa lwe bandikkuse?
10 Naye nze mmwambudde Esawu, mbikkudde ku bifo bye eby'ekyama, so taliyinza kwekweka: ezzadde lyo linyagiddwa ne baganda be ne baliraanwa be, so ye taliiwo.
11 Leka abaana bo abatalina kitaabwe, nze ndibakuuma okuba abalamu; ne bannamwandu bo banneesige nze.
12 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, abo abaali batagwanidde kunywa ku kikompe tebalirema kunywa; naawe ggwe wuuyo aliwonera ddala okubonerezebwa toliwona obutabonerezebwa, naye tolirema kunywa.
13 Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nga Bozula kirifuuka kyewuunyo n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo agataliggwaawo.
14 Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti Mwekuŋŋaanye mukitabaale mugolokoke mulwane.
15 Kubanga, laba, nkufudde mutono mu mawanga, era anyoomebwa mu bantu.
16 Eby'okutiisa kwo, amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ai ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi: ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuggyayo, bw'ayogera Mukama.
17 Kale Edomu alifuuka kyewuunyo: buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga ebibonobono byonna ebyayo.
18 Nga Sodomu ne Ggomola bwe byasuulibwa n'ebibuga ebyaliraanawo, bw'ayogera Mukama, tewali muntu alibeera eyo, so tewaliba mwana wa muntu alituula omwo.
19 Laba, alyambuka ng'empologoma eva mu malala ga Yoludaani okulumba ekifo eky'okubeeramu eky'amaanyi; naye ndikimuddusa mangu ago; era buli alirondebwa oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze? era ani ananteekerawo ekiseera? era omusumba aluwa anaayimirira mu maaso gange?
20 Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde eri abo abatuula mu Temani: mazima balibakulula, era n'abaana abato ab'omu kisibo mazima alizisa ekifo kye babeeramu wamu nabo.
21 Ensi ekankana olw'eddoboozi ery'okugwa kwabwe; waliwo okuleekaana, eddoboozi lyakwo ne liwulirwa mu Nnyanja Emmyufu.
22 Laba, alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula: n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.
23 Eby'e Ddamasiko. Kamasi akwatiddwa ensonyi ne Alupadi; kubanga bawulidde ebigambo ebibi, basaanuuse: ku nnyanja kuliko obuyinike; teyinza kuteeka.
24 Ddamasiko ayongobedde, akyuka okudduka, n'okukankana kumukutte: obubalagaze n'obuyinike bimunywezezza ng'omukazi alumwa okuzaala.
25 Ekibuga eky'okutendereza kiki ekirobedde okukirekayo, ekibuga eky'essanyu lyange?
26 Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, n'abasajja bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye.
27 Era ndikuma omuliro mu bbugwe w’e Ddamasiko, era gulyoka amayumba ga Benukadaadi.
28 Ebya Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yakuba. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mugolokoke mwambuke e Kedali, munyage abaana ab'ebuvanjuba.
29 Eweema zaabwe n'embuzi zaabwe balizitwala; balyetwalira bo bennyini amagigi gaabwe n'ebintu byabwe byonna n'eŋŋamira zaabwe: era balibalangira nti Entiisa eri ku njuyi zonna.
30 Mudduke mutambuletambule wala mwekweke wansi, mmwe ababeera e Kazoli, bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi.
31 Mugolokoke mwambuke eri eggwanga eryegolola, eribeerera awo nga lisiita, bw'ayogera Mukama; abatalina nzigi newakubadde ebisiba, abatuula bokka.
32 N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'olufulube lw'ensolo zaabwe luliba lwa kugereka: era ndisaasaanyiza awali empewo zonna abo abamwa oluge; era ndireeta obuyinike bwabwe okubafuluma enjuyi zonna, bw'ayogera Mukama.
33 Era Kazoli kinaabanga kifo kya bibe eky'okubeerangamu, matongo ag'olubeerera: tewaabenga muntu alibeera eyo, so tewaabenga mwana wa muntu alituula omwo.
34 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi ekya Eramu, Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje alye obwakabaka, nga kyogera nti
35 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, bwe bwesige obw'amaanyi gaabwe.
36 Era ndireeta ku Eramu empewo ennya okuva mu njuyi zonna ez'eggulu, era ndibasaasaanyiza eri empewo ezo zonna; so tewaliba ggwanga abagobebwa aba Eramu gye batalituuka.
37 Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe: era ndibaleetako obubi, ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalawo:
38 era nditeeka entebe yange mu Eramu, ne mmalamu omwo kabaka n'abakungu, bw'ayogera Mukama.
39 Naye olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikomyawo nate obusibe bwa Edomu, bw'ayogera Mukama.