Yeremiya
Essuula 46
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi ku mawanga.
2 Ku Misiri: eby'eggye lya Falaawoneko kabaka w’e Misiri eryali ku lubalama lw'omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda.
3 Muteeketeeke akagabo n'engabo, musembere okulwana.
4 Muteeke amatandiiko ku mbalaasi, mulinnye, mmwe abeebagala embalaasi, muyimirire mu maaso nga mulina enkuufiira zammwe ez'ebyuma; muzigule amafumu, mwambale ebizibawo eby'ebyuma.
5 Nkirabidde ki? bakeŋŋentereddwa, bazze ennyuma; n'abasajja baabwe ab'amaanyi basuuliddwa wansi, era badduse mbiro, so tebatunula nnyuma: entiisa eri ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama.
6 Ab'embiro baleme okudduka so n'omusajja ow'amaanyi aleme okuwona; obukiika obwa kkono ku lubalama lw'omugga Fulaati beesittadde bagudde.
7 Ani ono agolokose nga Kiyira, amazzi ge geesuukunda ng'emigga?
8 Misiri yagolokoka nga Kiyira, n'amazzi ge geesuukunda ng'emigga: naayogera nti Naagolokoka, naabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ekibuga n'abo abakituulamu.
9 Mwambuke, mmwe embalaasi; mulaluke, mmwe amagaali; n'abasajja ab'amaanyi bafulume: Kuusi ne Puti abakwata engabo; n'Abaluudi abakwata abanaanuula omutego.
10 Kubanga olunaku olwo lunaku lwa Mukama, Mukama w'eggye, olunaku olw'okuwalanirako eggwanga awalane eggwanga ku balabe be: n’ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta: kubanga Mukama, Mukama w’eggye, alina ssaddaaka gy'asalira mu nsi ey'obukiika obwa kkono ku lubalama lw'omugga Fulaati.
11 Yambuka e Gireyaadi, oddire eddagala, ggwe omuwala wa Misiri atamanyi musajja: onywera bwereere eddagala ery'engeri ennyingi; tewali kuwona eri ggwe.
12 Amawanga gawulidde okuwemuka kwo, n'ensi ejjudde okukaaba kwo: kubanga omusajja ow'amaanyi yeesittadde ku w'amaanyi, bagwiridde wamu bombi.
13 Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bw'agenda okujja n'akuba ensi y'e Misiri.
14 Mubuulire mu Misiri, mulangire mu Migudooli, era mulangire mu Noofu ne Tapanesi: mwogere nti Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna.
15 Ababo ab'amaanyi kiki ekibatwaza olw'amaanyi? tebaayimirira, kubanga Mukama ye yabagoba.
16 Yabeesittaza bangi, weewaawo, baagwaŋŋanako: ne boogera nti Golokoka tuddeyo eri abantu ab'ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu okuva eri ekitala ekijooga.
17 Baayogerera eyo nti Falaawo kabaka w'e Misiri luyoogaano buyoogaano; asobezza entuuko ezaalagirwa.
18 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye, mazima nga Taboli mu nsozi era nga Kalumeeri ku lubalama lw'ennyanja, bw'alijja bw'atyo.
19 Ai omuwala abeera mu Misiri, weesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era kiryokebwa obutabaamu abeeramu.
20 Misiri nte nduusi nnungi nnyo; naye okuzikirira okuvudde mu bukiika obwa kkono kutuuse, kutuuse.
21 N'abasajja be b'agulirira abali wakati we bali ng'ennyana ez'omu kisibo; kubanga nabo bazze ennyuma, baddukidde wamu, tebaayimirira: kubanga olunaku olw'okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, ebiro eby'okujjirwa kwabwe.
22 Eddoboozi lyakwo liritambula ng'omusota; kubanga balitambula nga balina eggye, ne bamutabaala nga balina embazzi, ng'abatema emiti.
23 Balitema ekibira kye, bw'ayogera Mukama, newakubadde nga tekinoonyezeka; kubanga basinga enzige obungi, so tebabalika.
24 Omuwala wa Misiri alikwatibwa ensonyi; aliweewayo mu mukono gw'abantu ab'obukiika obwa kkono.
25 Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ayogera nti Laba, ndibonereza Amoni ow'e No, ne Falaawo, ne Misiri ne bakatonda be ne bakabaka be; Falaawo n'abo abamwesiga:
26 era dibagabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni, ne mu mukono gw'abaddu be: kale oluvannyuma erituulwamu nga mu naku ez'edda, bw'ayogera Mukama.
27 Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isiraeri: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi y'obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo, era alitereera era alyessa, so tewaliba alimutiisa.
28 Totya gwe, ai Yakobo omuddu wange, bw’ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.