Yeremiya
Essuula 41
Awo olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisama, ow'oku zzadde lya kabaka, era omu ku baami abakulu aba kabaka, n'abasajja kkumi wamu naye, ne bajja eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa: awo ne baliira eyo emmere wamu e Mizupa.
2 Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ayimuka n'abasajja ekkumi abaali naye ne bafumita Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'ekitala ne bamutta, kabaka w'e Babulooni gwe yali awadde okufuga ensi.
3 Era Isimaeri n'atta n'Abayudaaya bonna abaali naye, abaali ne Gedaliya e Mizupa, n'Abakaludaaya abaalabika eyo, abasajja abalwanyi.
4 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okubiri ng'amaze okutta Gedaliya, so nga tewali muntu akimanyi,
5 abamu ne bajja abaava e Sekemu ne Siiro ne Samaliya, abasajja kinaana, nga bamwereddwa ebirevu byabwe n'ebyambalo byabwe nga babiyuzizza, era nga beesaze, nga balina ebitone n'omugavu mu mukono gwabwe okubireeta mu nnyumba ya Mukama.
6 Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ava mu Mizupa okubasisinkana, ng'agenda ng'akaaba amaziga: awo olwatuuka bwe yasisinkana nabo, n'abagamba nti Mujje eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.
7 Awo olwatuuka bwe baatuuka wakati mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abatta n'abasuula wakati mu bunnya ye n'abasajja abaali naye.
8 Naye ne mulabika mu bo abasajja kkumi abaagamba Isimaeri nti Totutta: kubanga tulina ebintu ebyaterekebwa ebyakisibwa mu nnimiro, eŋŋaano ne sayiri, n'amafuta, n'omubisi gw'enjuki. Awo n'atabattira wamu ne baganda baabwe.
9 Era obunnya Isimaeri mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yatta, okuliraana Gedaliya, (bwe buli Asa kabaka bwe yasima olw'okutya Baasa kabaka wa Isiraeri,) Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abujjuza abo abattibwa.
10 Awo Isimaeri n'atwala nga basibe abo bonna abaafikkawo ku bantu abaali mu Mizupa, abawala ba kabaka n'abantu bonna abaali basigadde mu Mizupa, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa be yali ateresezza Gedaliya mutabani wa Nesaniya n'abatwala nga basibe, n'agenda okusomoka okugenda eri abaana ba Amoni.
11 Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye bwe baawulira obubi bwonna Isimaeri mutabani wa Nesaniya bwe yali akoze,
12 kale ne batwala abasajja bonna ne bagenda okulwana ne Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne bamusanga awali amazzi amangi agali mu Gibyoni.
13 Awo olwatuuka abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, ne basanyuka.
14 Awo abantu bonna Isimaeri be yali atutte nga basibe okubaggya e Mizupa, ne bakyuka ne baddayo, ne bagenda eri Yokanani mutabani wa Kaleya.
15 Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'awona Yokanani ng'alina abasajja munaana, n'agenda eri abaana ba Amoni.
16 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye ne batwala ekitundu kyonna ekifisseewo ku bantu be yali akomezzaawo okubaggya ku Isimaeri mutabani wa Nesaniya, e Mizupa, bwe yamala okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu, abasajja abalwanyi n'abakazi n'abaana abato n'abalaawe be yakomyawo okuva e Gibyoni:
17 awo ne baddayo ne babeera mu Gerusukimamu ekiriraanye Besirekemu, okugenda okuyingira mu Misiri,
18 olw'Abakaludaaya: kubanga baali babatidde, kubanga Isimaeri mutabani wa Nesaniya yatta Gedaliya mutabani wa Akikamu kabaka w'e Babulooni gwe yawa okufuga ensi.