Yeremiya
Essuula 6
Mudduke olw'okuwona, mmwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, musimbe akabonero ku Besukakkeremu: kubanga obubi butunula nga buyima obukiika obwa kkono n'okuzikirira okunene.
2 Oyo omulungi omwekanasi, omuwala wa Sayuuni, ndimuzikiriza.
3 Abasumba balijja gy'ali nga balina ebisibo byabwe; balisimba eweema zaabwe okumwolekera enjuyi zonna; baliriira buli muntu mu kifo kye ye.
4 Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulinnye mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bukka, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi byenudde.
5 Muyimuke twambuke kiro, tuzikirize amayumba ge.
6 Kubanga Mukama w'eggye ayogedde bw'ati nti Muteme emiti mutuume entuumo ku Yerusaalemi: ekibuga ekyo kye kigenda okubonerezebwa; kyonna kujooga kwereere wakati mu kyo.
7 Ng'oluzzi bwe lukulukuta amazzi gaalwo, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo: ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo.
8 Yiga ggwe Yerusaalemi, emmeeme yange ereme okwawukana naawe; nneme okukufuula amatongo, ensi omutali muntu.
9 Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti Baliyerera ddala abalisigala ku Isiraeri ng'omuzabbibu: zza nate omukono gwo ng'omunozi w'ezabbibu mu bibbo.
10 Ani gwe mba njogera naye ne mba omujulirwa, balyoke bawulire? laba, okutu kwabwe si kukomole, so tebayinza kuwuliriza: laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.
11 Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okuzibiikiriza: kiyiwe ku baana abato mu luguudo ne ku kkuŋŋaaniro ly'abavubuka wamu: kubanga ne bba wamu n'omukazi alikwatibwa, omukadde wamu n'oyo awezezza ennaku ennyingi.
12 N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi, bw'ayogera Mukama.
13 Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya.
14 Era bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti Mirembe, mirembe; so emirembe nga tewali.
15 Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eby'emizizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwira mu abo abagwa: mu kiseera mwe ndibajjirira mwe balisuulirwa, bw'ayogera Mukama.
16 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo: naye ne boogera nti Tetuutambulire omwo.
17 Ne mbateekako abakuumi ne boogera nti Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere; naye ne boogera nti Tetuuwulirize.
18 Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiri mu bo.
19 Wulira, ggwe ensi: laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulidde bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.
20 Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, n'emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tebinsanyusa.
21 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano: ne bakitaabwe ne batabani baabwe wamu balizeesittalako; muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.
22 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi.
23 Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala, ng'omusajja bw'atalira olutalo, okulwana naawe, ai omuwala wa Sayuuni.
24 Tuwulidde ettutumu lyalyo; emikono gyaffe ne ginafuwala: obubalagaze butukutte n'okulumwa ng'omukazi alumwa okuzaala.
25 Temufulumanga mu ttale, so temutambuliranga mu kkubo; kubanga eriyo ekitala eky'omulabe n'entiisa enjuyi zonna.
26 Ai omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu: kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omunyazi alitujjira nga tetumanyiridde.
27 Nkufudde kigo era lukomera mu bantu bange; olyoke omanye okeme ekkubo lyabwe.
28 Bonna bajeemu abatalabwa, nga batambula nga bawaayiriza; bikomo era byuma: bonna bakola eby'obukyamu.
29 Emivubo gifuuwa n'amaanyi; omuliro gumalawo lisasi: beeyongerera bwereere okulongoosa; kubanga ababi tebasimbulibwawo.
30 Masengere ga ffeeza, abantu bwe balibayita bwe batyo, kubanga Mukama abasudde.