Yeremiya
Essuula 7
Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti
2 Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangirire eyo ekigambo kino, oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibatuuza mu kifo kino.
4 Temwesiganga bigambo bya bulimba nti Bino ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama.
5 Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaatuukiririzanga ddala emisango eri omuntu ne munne;
6 bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so temuuyiwenga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, so temuutambulenga okugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini:
7 kale ndibatuuza mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna.
8 Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa.
9 Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga,
10 ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno erituumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti Tuwonyezebbwa; mulyoke mukole emizizo egyo gyonna?
11 Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama.
12 Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri.
13 Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama; ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba:
14 kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange; gye mwesiga, n'ekifo kye nnawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro.
15 Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.
16 Kale tosabiranga bantu bano so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba, so tonneegayiriranga okuwolereza, kubanga siikuwulire.
17 Tolabye bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?
18 Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansunguwaze.
19 Basunguwaza nze? bw'ayogera Mukama tebeesunguwaza bo bennyini, okuswaza amaaso gaabwe bo?
20 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange birifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so te bulizikizibwa.
21 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama.
22 Kubanga saayogera ne baajjammwe so saabalagira ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri eby'ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka:
23 naye ekigambo kino kye nnabaagira nti Muwulirenga eddoboozi lyange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange: era mutambulirenga nu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.
24 Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera mu maaso.
25 Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma:
26 era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe: baakola obubi okukira bajjajjaabwe.
27 Era obagambanga ebigambo bino byonna; naye tebaakuwulirenga; era obakoowoolanga, naye tebaakuyitabenga.
28 Era obagambanga nti Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa: amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.
29 Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku nsozi ez'obweru; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe egy'obusungu bwe, abaleseeyo.
30 Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama: batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona.
31 Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby'e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekyayingira mu mutima gwange.
32 Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.
33 N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsi; so tewaliba alizisaggula.
34 Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'essanyu, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole: kubanga ensi erifuuka nsiko.