Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 19

Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ey'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku bakadde ba bakabona;
2 ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangirire eyo ebigambo bye nnaakugamba:
3 oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.
4 Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatonda abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango;
5 era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekyayingira mu mwoyo gwange:
6 kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu.
7 Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.
8 Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna
9 Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe kwe balibanyigiriza.
10 Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda naawe nga balaba,
11 n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu ky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate: era baliziikira mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.
12 Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi:
13 n'ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezoonoonese ziriba ng'ekifo Tofesi, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eggye lyonna ery'eggulu, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa.
14 Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okulagula; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyazizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange.