Yeremiya
Essuula 12
Oli mutuukirivu, ai Mukama, bwe mpoza naawe: naye era nandibadde ne kye nkunnyonnyolayoko: ekkubo ery'ababi lirabira ki omukisa? batereerera ki abo bonna abalimbalimba ennyo?
2 Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n'emmeeme yaabwe.
3 Naye ggwe, ai Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli: basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirako.
4 Ensi erituusa wa okuwuubaala, n'emiddo egy'omu nsi yonna ne giwotoka? olw'obubi bw'abo abagirimu ensolo kyeziva zimalibwawo, n'ennyonyi; kubanga bayogera nti Taliraba nkomerero yaffe ya luvannyuma.
5 Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? era newakubadde nga weegolodde mu nsi ey'emirembe, naye olikola otya mu malala ga Yoludaani?
6 Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyelimbye; era nabo balangirizza ennyuma wo: tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.
7 Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange; mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be.
8 Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira: ayimusizza eddoboozi lye ku nze; kyenvudde mmukyawa.
9 Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye.
10 Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu.
11 Bagufudde matongo; guwuubaala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissaako mwoyo.
12 Abanyazi batuuse ku nsozi zonna ez'obweru mu ddungu: kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi: tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe.
13 Basiga eŋŋaano, bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasizza: era mulikwatibwa ensonyi olw'ebibala byammwe olw'ekiruyi kya Mukama.
14 Bw'ati bw'ayogera Mukama eri baliraanwa bange bonna ababi abakoma ku busika bwe nnasisa abantu bange Isiraeri nti Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula ennyumba ya Yuda wakati mu bo.
15 Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
16 Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, okulayira erinnya lyange nti Nga Mukama bw'ali omulamu; era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.
17 Naye bwe batalikkiriza kuwulira, awo ndisimbula eggwanga eryo, nga nsimbula era nga ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.