Yeremiya
Essuula 38
Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Asigala mu kibuga muno alifa ekitala n'enjala ne kawumpuli naye oyo afuluma n'agenda eri Abakaludaaya aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya.
4 Awo abakungu ne bagamba kabaka nti Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya emikono gy'abasajja abalwanyi abasigadde mu kibuga muno, n'emikono gy'abantu bonna, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza mirembe bantu bano wabula obubi.
5 Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti Laba, ali mu mukono gwammwe: kubanga kabaka si ye ayinza okukola ekigambo kyonna okubaziyiza.
6 Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu nnyumba ey'obunnya eya Malukiya omwana wa kabaka eyali mu luggya olw'abambowa: ne bassa Yeremiya n'emigwa. So mu bunnya nga temuli mazzi wabula ebitosi: Yeremiya n'atubira mu bitosi.
7 Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu bunnya; kabaka ng'atudde mu mulyango gwa Benyamini;
8 awo Ebedumereki n'ava mu nnyumba ya kabaka n'agamba kabaka nti
9 Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze Yeremiya nnabbi gwe basudde mu bunnya; era ayagala kufiira mu kifo mw'ali olw'enjala: kubanga tewakyali mmere mu kibuga:
10 Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti Ggya wano abasajja amakumi asatu obatwale ogende nabo, olinnyise Yeremiya nnabbi ng'omuggya mu bunnya nga tannafa.
11 Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka wansi w'eggwanika, n’aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n’enziina envundu n'azissiza ku migwa mu bunnya eri Yeremiya.
12 Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti Teeka nno ebiwero bino ebikadde ebyasuulibwa n'enziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa. Awo Yeremiya n'akola bw'atyo.
13 Awo ne baggya Yeremiya mu bunnya nga bamuwalula n'emigwa egyo: awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa.
14 Awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'aleeta Yeremiya nnabbi gy'ali mu mulyango ogw'okusatu oguli mu nnyumba ya Mukama: awo kabaka n'agamba Yeremiya nti Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna.
15 Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti Bwe nnaakubuulira, tonzite? era bwe nnaakuweerera amagezi, tompulirize.
16 Awo Zeddekiya kabaka n'alayirira kyama Yeremiya ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyatukolera emmeeme eno, sirikutta, so sirikuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo.
17 Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale emmeeme yo eriba nnamu n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro;
18 naawe oliba mulamu n'ennyumba yo: naye bw'otokkirize kufuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe tolawona mu mukono gwabwe.
19 Awo Zeddekiya kabaka n'agamba Yeremiya nti ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya baleme okumpaayo mu mukono gwabwe, ne banduulira.
20 Naye Yeremiya n'ayogera nti Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba: kale lw'oliba obulungi, n'emmeeme yo eriba nnamu.
21 Naye bw'onoogana okufuluma, kino kye kigambo Mukama ky'andaze:
22 Laba, abakazi bonna abasigadde mu nnyumba ya kabaka wa Yuda balifulumizibwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, era abakazi abo balyogera nti Mikwano gyo ennyo be baakuwaana, n'okusobola bakusobodde: ebigere byo nga bimaze okutubira mu bitosi, bazze ennyuma.
23 Era balifulumya bakazi bo bonna n'abaana bo eri Abakaludaaya: so toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa n'omukono gwa kabaka w'e Babulooni: era olyokesa omuliro ekibuga kino.
24 Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, kale tolifa.
25 Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti Tubuulire nno bye wagamba kabaka; tokitukisa, naffe tetuukutte; era n'ebyo kabaka bye yakubuulira;
26 kale n'olyoka obagamba nti Naleeta okwegayirira kwange mu maaso ga kabaka aleme okunzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani okufiira omwo.
27 Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza: n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne balekayo okwogera naye; kubanga ekigambo ekyo tekyategeerebwa.
28 Awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa okutuusa ku lunaku Yerusaalemi lwe kyamenyebwa.