Yeremiya
Essuula 37
Awo Zeddekiya mutabaai wa Yosiya n'afuga nga ye kabaka mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda.
2 Naye teyawuliranga bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya, ye newakubadde abaddu be newakubadde abantu ab'omu nsi.
3 Awo Zeddekiya kabaka n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'ayogera nti Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.
4 Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu: kubanga baali tebaanamuteeka mu kkomera.
5 Era eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizza Yerusaalemi bwe baawulira ebigambo byabwe, ne basaasaana okuva ku Yerusaalemi.
6 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kyogera nti
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eritabadde okubayamba liridda mu Misiri mu nsi yaabalyo.
8 Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era balikimenya ne bakyokya omuliro.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temwerimba nga mwogera nti Abakaludaaya tebalirema kutuvaako: kubanga tebalibavaako.
10 Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, era naye bandigolokose buli muntu mu weema ye ne bookya ekibuga kino omuliro:
11 Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo,
12 kale Yeremiya n’afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe eyo wakati mu bantu.
13 Awo bwe yali mu mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa yali ali eyo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti Osenga Abakaludaaya.
14 Awo Yeremiya n'ayogera nti Olimba; sisenga Bakaludaaya; naye n'atamuwulira: kale Iriya n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.
15 Awo abakungu ne basunguwalira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga gye baali bafudde ekkomera.
16 Awo Yeremiya bwe yatuuka mu nnyumba ey'obunnya ne mu buyu, era Yeremiya bwe yali ng'amaze ennaku nnyingi omwo;
17 awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'amukima: kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama? Awo Yeremiya n'ayogera nti Weekiri. Era n'ayogera nti Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni.
18 Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti Nali nkwonoonye mu ki oba abaddu bo oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera?
19 Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babulooni talibatabaala, newakubadde ensi eno?
20 Kale nno wulira, nkwegayiridde, ai mukama wange kabaka: okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.
21 Kale Zeddekiya kabaka n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva ku luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.