Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 11

Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti
2 Muwulire ebigambo eby'endagaano eno, era mugambe abasajja ba Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi;
3 obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Omusajja akolimirwe atawulira bigambo bya ndagaano eno,
4 gye nnalagirira bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, nga njogera nti Mugonderenga eddoboozi lyange mubikolenga nga byonna bwe biri bye mbalagira: bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange naabanga Katonda wammwe:
5 ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki nga leero. Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti Amiina, ai Mukama.
6 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera nti Muwulire ebigambo eby'endagaano eno mubikole.
7 Kubanga nategeereza ddala bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri ne leero, nga ngolokoka mu makya era nga ntegeeza, nga njogera nti Mugondere eddoboozi lyange.
8 Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi: kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.
9 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okwekobaana kulabise mu basajja ba Yuda ne mu abo abali mu Yerusaalemi.
10 Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga: ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.
11 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaleetako obubi bwe bataliyinza kuwona; era balinkaabirira, naye siribawuliriza.
12 Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane: naye tebalibalokolera n'akamu mu biro mwe balabira ennaku.
13 Kubanga ebibuga byammwe bwe byenkana obungi, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ai Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe musimbidde bwe mutyo ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali.
14 Kale ggwe tosabiranga bantu bano, so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba: kubanga siribawulirira mu biro mwe balinkaabirira olw'ennaku ze balabye.
15 Muganzi wange afaayo ki mu nnyumba yange, kubanga akoze eby'obukaba n'abangi, n'omubiri omutukuvu gukuvuddeko? bw'okola obubi lw'osanyuka.
16 Mukama yakutuuma erinnya nti Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi: n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, n'amatabi gaagwo gamenyese.
17 Kubanga Mukama w'eggye eyakusimba akwogeddeko obubi, olw'obubi obw'ennyumba ya Isiraeri n'obw'ennyumba ya Yuda bwe beekolera nga bansunguwaza olw'okwotereza Baali obubaane.
18 Awo Mukama n'akimmanyisa ne nkimanya: kale n'olyoka ondaga ebikolwa byabwe.
19 Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so saamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate.
20 Naye, ai Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo: kubanga ggwe ntegeezezza ensonga yange.
21 Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti Tolaguliranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta:
22 Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibabonereza: abavubuka balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala;
23 so tebaliba na balifikkawo: kubanga ndireeta obubi ku basajja aba Anasosi, gwe mwaka mwe balijjirirwa.