Yeremiya
Essuula 32
Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadduleeza.
2 Awo mu biro ebyo eggye lya kabaka w'e Babulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi: ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda.
3 Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti Kiki ekikulaguza n'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya;
4 ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye talirema kuweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, n'amaaso ge galiraba amaaso g'oyo;
5 era alitwala Zeddekiya e Babulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjira, bw'ayogera Mukama: newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, temuliraba kisa.
6 Awo Yeremiya n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kyajja gye ndi nga kyogera nti
7 Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi: kubanga okuginunula kukwo.
8 Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama, n'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini: kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; weegulire wekka. Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama.
9 Ne ngula ennimiro eyali mu Anasosi eri Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu.
10 Ne mpandiika erinnya lyange ku kiwandiike ne nkissaako akabonero, ne mpita abajulirwa ne mmupimira effeeza mu minzaani.
11 Awo ne ntoola ekiwandiike eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero ng'etteeka n'empisa bwe biri, era n'ekyo ekitaali kisibe:
12 ne mpaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali n'abajulirwa nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku kiwandiike eky'okugula mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa.
13 Ne nkuutira Baluki mu maaso gaabwe nga njogera nti
14 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ddira ebiwandiike bino, ekiwandiiko kino eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero era n'ekiwandiike kino ekitali kisibe, obitereke mu kintu eky'ebbumba; bimale ennaku nnyingi.
15 Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n’ensuku ez'emizabbibu ne bigulirwa nate mu nsi eno.
16 Awo nga mmaze okuwaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya, ne nsaba Mukama nga njogera nti
17 Ai Mukama Katonda! laba, watonda eggulu n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogwagololwa; tewali kigambo kikulema:
18 akola enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo; Katonda omukulu ow'amaanyi, Mukama ow'eggye lye linnya lye:
19 omukulu mu kuteesa: era ow'amaanyi mu kukola emirimu: amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri:
20 eyassaawo obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri ne leero, mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; ne weefunira erinnya nga leero:
21 n'oggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'obubonero n'eby'amagero n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'entiisa nnyingi;
22 n'obawa ensi eno gye walayirira bajjajjaabwe okubawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki;
23 ne bayingira ne bagirya; naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola: kyewava obaleetako obubi buno bwonna
24 laba entuumo, zituuse mu kibuga okukimenya; ekibuga n'ekiweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya abalwana nakyo olw'ekitala n’enjala ne kawumpuli: era ebyo bye wayogera bituukiridde; era, laba obitunuulidde.
25 Era oŋŋambye ai Mukama Katonda, nti Weegulire ennimiro n'ebintu oyite abajulirwa era naye ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.
26 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti
27 Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri: waliwo ekigambo kyonna ekimema?
28 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gw'Abakaludaaya mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, era alikimenya:
29 n'Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza ekibuga kino ne bakyokya n’ennyumba ze baayotererezangako waggulu obubaane Baali, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa okunsunguwaza.
30 Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda baakakola ebyali ebibi mu maaso gange ebyereere okuva mu buto bwabwe kubanga abaana ba Isiraeri bansunguwaza busunguwaza n'omulimu ogw'engalo zaabwe, bw'ayogera Mukama.
31 Kubanga ekibuga kino kyaleetanga obusungu bwange n’ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe baakizimba ne leero; nkijjulule okukiggya mu maaso gange:
32 olw'obubi bwonna obw'abaana ba Isiraeri n'obw'abaana ba Yuda bwe baakola okunsunguwaza, bo ne kakabaka baabwe, abakungu baabwe, bakabona baabwe ne bannabbi baabwe, n'abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi.
33 Era bankubye nkoona so si maaso: era newakubadde nga nabayigiriza, nga ngolokoka mu makya ne mbayigiriza; naye tebaawulirizanga okukkiriza okuyiga.
34 Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange okugyonoona.
35 Era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, okuyisa batabani baabwe n'abawala baabwe mu muliro eri Moleki; kye sibalagiranga so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonoonyesa Yuda.
36 Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ekibuga kino kye mwogerako nti Kiweereddwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nti
37 Laba, ndibakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi: era ndibakomyawo mu kifo kino, era ndibatuuza mirembe:
38 era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe:
39 era ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo:
40 era ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, obutakyuka okubaleka okubakola obulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.
41 Weewaawo, ndibasanyukira okubakolanga obulungi, era sirirema kubasimba mu nsi eno n'omutima gwange gwonna n'emmeeme yange yonna.
42 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nga bwe ndeese obubi buno bwonna obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza.
43 Kale ennimiro zirigulirwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.
44 Abantu baligula ennimiro n'ebintu, ne bawandiika amannya gaabwe ku biwandiike ne babiteekako obubonero ne bayita abajulirwa mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, bw'ayogera Mukama.