Yeremiya
Essuula 28
Awo olwatuuka mu mwaka ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga mu mwaka ogw'okuna mu mwezi ogw'okutaano Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni.
3 Emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako ndireeta nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babulooni:
4 era ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abasibe bonna aba Yuda abaagenda e Babulooni, bw'ayogera Mukama: kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.
5 Awo nnabbi Yeremiya n'agamba nnabbi Kananiya, bakabona nga weebali n'abantu bonna abayimiridde mu nnyumba ya Mukama nga weebali,
6 nnabbi Yeremiya n'ayogera nti Amina: Mukama akole bw'atyo: Mukama atuukirize ebigambo byo by'olagudde okukomyawo ebintu by'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna ab'obusibe okubaggya e Babulooni okubaleeta mu kifo kino.
7 Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bonna, nti
8 Bannabbi abansooka nze era abaakusooka ggwe edda baalagulanga eri ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka amakulu, nga balagula obulwa n'obubi ne kawumpuli.
9 Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale nnabbi alimanyibwa nga Mukama yamutuma mazima.
10 Awo Kananiya nnabi n'aggya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya n'agumenya.
11 Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako. Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo.
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, Kananiya nnabbi ng'amaze okumenya omuti ku nsingo ya nnabbi Yeremiya, nga kyogera
13 nti Genda obuulire Kananiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Omenye ekikoligo eky'emiti, naye olikola ekikoligo eky'ebyuma okudda mu kifo kyakyo.
14 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ntadde ekikoligo eky'ebyuma ku nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni; era balimuweereza: era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko.
15 Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba Kananiya nnabi nti Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye weesiza abantu bano eky'obulimba.
16 Mukama kyava ayogera nti Laba, ndikusindika okuva ku nsi: mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.
17 Awo Kananiya nnabbi n'afiira mu mwaka ogwo mu mwezi ogw'omusanvu.