Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 48

Ebya Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Zisanze Nebo! kubanga bakizisizza; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa: Misugabu kikwasibbwa ensonyi, kisuuliddwa.
2 Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo; bakiteeserezza obubi mu Kesubooni, nti Mujje tukimalewo obutaba ggwanga. Era naawe, ai Madumeni, olisirisibwa; ekitala kirikucocca.
3 Eddoboozi ery'okuleekaana eriva e Kolonayimu, okunyaga n'okuzikiriza okunene!
4 Mowaabu azikiridde; abaana baamu abato bawulizizza okukaaba.
5 Kubanga balyambukira awalinnyirwa e Lakisi nga bakaaba amaziga agatata; awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde obuyinike obw’okukaaba olw’okuzikirira.
6 Mudduke muwonye obulamu bwammwe, mufaanane omwoloola oguli mu ddungu.
7 Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, era naawe olikwatibwa: ne Kemosi alivaayo aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu.
8 N'omunyazi alituuka ku buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era n'ekiwonvu kiribula, n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera.
9 Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke yeegendere: n'ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali wa kutuulamu.
10 Akolimiddwa oyo akola omulimu gwa Mukama ng'atenguwa, era akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye mu musaayi.
11 Mowaabu yessizza okuva mu buto bwe, era teyeesengezze ebbonda lye, tattululirwanga mu bita so tagendanga mu busibe: ensa ye kyeva ebeera mu ye, n'akawoowo ke tekajjulukukanga.
12 Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndimutumira abo abattulula, kale balimuttulula; era balimalamu ebintu bye, ne bamenyaamenya ensuwa zaabwe.
13 Kale Mowaabu alikwatirwa Kemosi ensonyi, ng'ennyumba ya Isiraeri bwe baakwatirwa ensonyi Beseri, obwesige bwabwe.
14 Mwogera mutya nti Tuli basajja ba maanyi era basajja bazira okulwana?
15 Mowaabu bamuzisizza, era batabadde ebibuga byayo, n'abalenzi baayo abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
16 Obuyinike bwa Mowaabu bunaatera okutuuka, n'ennaku ze zanguwa mangu.
17 Mmwe mwenna abamwetoolodde mumukungubagire, nammwe mwenna abamanyi erinnya lye; mwogere nti omuggo ogw'amaanyi nga gumenyese, oluga olulungi!
18 Ai ggwe omuwala, atuula mu Diboni, serengeta ove ku kitiibwa kyo, otuule ng'olumiddwa ennyonta; kubanga omunyazi wa Mowaabu akutabadde, azikirizza ebigo byo.
19 Ai ggwe atuula mu Aloweri, yimirira ku mabbali g'ekkubo okette: buuza omusajja adduka, n'omukazi awona; oyogere nti Ebifaayo?
20 Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese: wowoggana okaabe; mukibuulire mu Alunoni nga Mowaabu bakizisizza.
21 N'omusango gutuuse ku nsi ey'ensenyi; ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi;
22 ne ku Diboni ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu;
23 ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne Besumyoni;
24 ne ku Keriyoosi ne ku Bozula ne ku bibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n'ebiri okumpi.
25 Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n'omukono gwe gumenyese, bw'ayogera Mukama.
26 Mumutamiize; kubanga yeegulumizanga eri Mukama: ne Mowaabu alyekulukuunya mu bisesemye bye, era naye alisekererwa.
27 Kubanga Isiraeri teyali wa kusekererwa gy'oli? yalabika mu babbi? kubanga buli lw'omwogerako onyeenya omutwe gwo.
28 Ai mmwe abatuula mu Mowaabu, muleke ebibuga mutuule mu mayinja; mufaanane kaamukuukulu akakola ekisu kye mu mbiriizi z'akamwa k'obunnya.
29 Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe.
30 Mmanyi obusungu bwe, bw'ayogera Mukama, nga si kintu; okwenyumiriza kwe tekuliiko kye kukoze.
31 Kyennaava mpowogganira Mowaabu; weewaawo, naaleekaanira Mowaabu yenna: abasajja ab'e Kirukeresi be balinnakuwalira.
32 Naakukaabira ggwe amaziga, ai omuzabbibu ogw'e Sibuma, nga nkira okukaaba kwa Yazeri: amatabi go gaayita ku nnyanja, gaatuuka ne ku nnyanja ya Yazeri: omunyazi agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa byo.
33 N'essanyu n'okujaguza biggiddwa ku nnimiro eŋŋimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero: tewaliba alisamba ng'aleekaana; okuleekaana kuliba nga si kuleekaana.
34 Okuva ku kuleekaana kwa Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n'okutuuka ku Yakazi, baleese eddoboozi lyabwe, okuva ku Zowaali okutuuka ku Kolonayimu, okutuuka ku Egulasuserisiya: kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago galirekebwawo.
35 Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane.
36 Omutima gwange kyeguva guvugira Mowaabu ng'emirere abasajja ab'e Kirukeresi: ebintu ebingi bye yafuna kyebivudde bizikirira.
37 Kubanga buli mutwe guliko ekiwalaata, na buli kirevu kisaliddwa: ku mikono gyonna kuliko ebisale, ne mu biwato mulimu ebibukutu.
38 Ku nnyumba zonna eza Mowaabu waggulu ne mu nguudo zaayo wonna wonna waliwo okukungubaga: kubanga mmenye Mowaabu ng'ekibya ekitasanyusa, bw'ayogera Mukama.
39 Nga kisuuliddwa! nga bawowoggana! Mowaabu ng'akyusizza enkoona n'ensonyi! kale Mowaabu alifuuka wa kusekererwa era wa kukeŋŋenterera eri abo bonna abamwetoolodde.
40 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, alibuuka ng'empungu, era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu.
41 Keriyoosi kimenyeddwa, n'ebigo babisonookerezza, n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Mowaabu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi bw'alumwa okuzaala.
42 Era Mowaabu alizikirizibwa obutaba ggwanga, kubanga yeegulumizizza eri Mukama.
43 Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe, ai ggwe atuula mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama.
44 Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika: kubanga ndireeta ku ye, ku Mowaabu, omwaka ogw'okujjirwa kwabwe, bw'ayogera Mukama.
45 Abadduka bayimirira nga tebalina maanyi wansi w'ekisiikirize kya Kesubooni: kubanga omuliro guvudde mu Kesubooni, n'ennimi z'omuliro zivudde wakati mu Sikoni, era gwokezza ensonda ya Mowaabu, n'obwezinge bw'abo abayoogaana.
46 Zikusanze ggwe, Mowaabu abantu ba Kemosi babuze: kubanga batabani bo batwalibbwa nga basibe ne bawala bo batwalibbwa mu busibe.
47 Naye ndikomyawo obusibe bwa Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu we gukoma wano.