Okubikkulirwa
Essuula 1
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n'abuulirira mu malayika we ng'amutuma eri omuddu we Yokaana,
2 eyategeeza ekigambo kya Katonda n'okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba.
3 Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.
4 Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye;
5 era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe;
6 n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina.
7 Laba, ajja n'ebire era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.
8 Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.
9 Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okutegeeza kwa Yesu.
10 Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe,
11 nga koogera nti Nze Alufa ne Omega, era Ky'olaba, wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu; eri Efeso, n'eri Sumuna, n'eri Perugamo, n'eri Suwatira, n'eri Saadi, n'eri Firaderufiya, n'eri Lawodikiya.
12 Ne nkyuka okulaba eddoboozi eryayogera nange. Bwe nnakyuka, ne ndaba ettabaaza musanvu eza zaabu;
13 ne wakati w'ettabaaza ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu.
14 N'omutwe gwe n'enviiri ze nga zitukula ng'ebyoya by'endiga ebitukula ng'omuzira; n'amaaso ge ng'ennimi z'omuliro;
15 n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongoosebbwa mu muliro; n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ly'amazzi amangi.
16 Era ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu: ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri: n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.
17 Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere bye ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti Totya; nze w'olubereberye era ow'enkomerero,
18 era Omulamu; era nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina ebisumuluzo eby'okufa n'eby'Emagombe.
19 Kale wandiika by'olabye, n'ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo;
20 ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ettabaaza omusanvu eza zaabu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu: n'ettabaaza omusanvu ze kkanisa omusanvu.