Okubikkulirwa
Essuula 10
Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;
2 era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;
3 n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo.
4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.
5 Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,
6 n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:
7 naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.
8 N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.
9 Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki.
10 Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa.
11 Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n'amawanga n'ennimi ne bakabaka abangi.