Okubikkulirwa
Essuula 16
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu yeekaalu, nga ligamba bamalayika omusanvu nti Mugende, mufuke ebibya omusanvu eby'obusungu bwa Katonda ku nsi.
2 Ow'olubereberye n'agenda, n'afuka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo ebbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina enkovu y'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.
3 Ow'okubiri n'afuka ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli mwoyo omulamu ne gufa, n'ebyo ebyali mu nyanja.
4 Ow'okusatu n'afuka ekibya kye mu migga ne mu nsulo z'amazzi, ne wabaawo omusaayi.
5 Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo:
6 kubanga baafuka omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw'obawadde okunywa: basaanidde.
7 Ne mpulira ekyoto nga kyogera nti Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, gya mazima era gya nsonga emisango gyo.
8 Ow'okuna n'afuka ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abantu n'omuliro.
9 Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina amaanyi ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.
10 Ow'okutaano n'afuka ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo obwakabaka bwayo ne buzikizibwa: ne beeruma ennimi zaabwe olw'obulumi,
11 ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabwa gaabwe, so tebeenenya mu bikolwa byabwe.
12 Ow'omukaaga n'afuka ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; n'amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe.
13 Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emizimu emibi esatu, nga giri ng'ebikere:
14 kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna.
15 (Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.)
16 Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Kalu-Magedoni.
17 Ow'omusanvu n'afuka ekibya kye ku bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti Kikoleddwa:
18 ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.
19 N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.
20 Na buli kizinga ne kidduka, so n'ensozi tezaalabika.
21 N'omuzira omunene, buli mpeke ng'obuzito obwa ttalanta, ne gukka okuva mu ggulu ku bantu: n'abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibonyoobonyo kyagwo kinene nnyo.