Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22

0:00
0:00

Essuula 6

Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti Jjangu.
2 Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n’aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule.
3 Bwe yabembula akabonero ak'okubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti Jjangu.
4 N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.
5 Bwe yabembula akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti Jjangu. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.
6 Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafuta n'omwenge so tobyonoona.
7 Bwe yabembula akabonero ak'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kyogera nti Jjangu.
8 Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko, erinnya lye Kufa; ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n’ensolo z'ensi.
9 Bwe yabembula akabonero ak'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina:
10 ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?
11 Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.
12 Bwe yabembula akabonero ek'omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;
13 n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi.
14 N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.
15 ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi;
16 ne bagamba ensozi n'amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga:
17 kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?