Okubikkulirwa
Essuula 2
Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti
2 Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba;
3 era olina okugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, so tewakoowa.
4 Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye.
5 Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.
6 Naye kino ky'olina kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa.
7 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.
8 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu nti
9 Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.
10 Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.
11 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.
12 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti
13 Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula.
14 Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.
15 Era naawe bw'otyo olina abakwata okuyigiriza kw'Abanikolayiti.
16 Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, njija gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange.
17 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja ejjeru, era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya: omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa.
18 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti
19 Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye.
20 Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi.
21 Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe.
22 Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye.
23 Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima : era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri.
24 Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala.
25 Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja.
26 Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga:
27 era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange;
28 era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya.
29 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.