Okubikkulirwa
Essuula 7
Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna.
2 Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu: n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja,
3 ng'ayogera nti Temwonoona nsi, newakubadde ennyanja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero abaddu ba Katonda waffe ku byenyi byabwe.
4 Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako akabonero, baali kasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaateekebwako akabonero mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri.
5 Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Lewubeeni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri:
6 Ab'omu kika kya Aseri kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Nafutaali kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Manaase kakumi mu enkumi bbiri:
7 Ab'omu kika kya Simyoni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Leevi kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Isakaali kakumi mu enkumi bbiri:
8 Ab'omu kika kya Zebbulooni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Yusufu kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri.
9 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, mu buli gwanga n'ebika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, ga bambadde ebyambalo ebyeru, amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe;
10 ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga.
11 Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetooloodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina; ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda,
12 nga boogera nti Amiina: omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe. Amiina.
13 Omu ku bakadde n'addamu, ng'aŋŋamba nti Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?
14 Ne mmugamba nti Mukama wange, gw'omanyi. N'aŋŋamba nti Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga.
15 Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu yeekaalu ye: n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.
16 Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna:
17 kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe y'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.