Okubikkulirwa
Essuula 15
Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.
2 Ne ndaba ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda.
3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe.
4 Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu birabise.
5 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu n'ebikkulwa:
6 ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu.
7 Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe.
8 Ne yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.