Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22

0:00
0:00

Essuula 3

Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.
2 Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange.
3 Kale jjukira bwe waaweebwa ne bwe wawulira; okwate, weenenye. Kale bw'otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.
4 Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde.
5 Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne mu maaso ga bamalayika be.
6 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.
7 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti bw’ati bw'ayogera oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, nti
8 Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw'atayinza kuggalawo) ng'olina amaanyi matono n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange.
9 Laba, ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okusinza mu maaso g'ebigere byo era ndibamanyisa nga nnakwagala.
10 Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abatuula ku nsi.
11 Njija mangu: nyweza ky'olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo.
12 Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.
13 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.
14 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti
15 Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.
16 Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange.
17 Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere:
18 nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.
19 Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye.
20 Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.
21 Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
22 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.