Okubikkulirwa

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22

0:00
0:00

Essuula 20

Ne ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe.
2 N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi,
3 n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.
4 Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okutegeeza kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukumi.
5 Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.
6 Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.
7 Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye,
8 era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyanja.
9 Ne balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya.
10 N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabbi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.
11 Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulibwa na kifo.
12 Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
13 N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
14 N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro.
15 Era omuntu yenna ataalabika ng'awandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro.