Yuda

Essuula : 1

0:00
0:00

Essuula 1

Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo:
2 okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli.
3 Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna, nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.
4 Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe okuba obukaba, ne beegaana Yesu Kristo, ye Mwami ye Mukama waffe omu yekka.
5 Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga byonna mwabimanya omulundi gumu, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza.
6 Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez'ennaku zonna wansi w'ekizikiza olw'omusango ogw'oku lunaku olukulu.
7 Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikyama okugobereranga omubiri omulala, byateekebwawo okuba ekyokulabirako, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo.
8 Naye era benkana nabo mu kulootaloota kwabwe nga basiiga omubiri empitambi era bagaana obukulu, era bavuma ab'ekitiibwa.
9 Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yayomba ne Setaani n'ayogera naye olw'omubiri gwa Musa, teyayaŋŋanga kumuleetako musango gwa kuvuma, naye yagamba nti Mukama akunenye.
10 Naye abo bye batamanya byonna babivuma: bye bamanya mu buzaaliranwa ng'ensolo ezitalina magezi mu ebyo bazikirira.
11 Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babulira mu kuwakana kwa Koola.
12 Bano ge mayinja agatalabika mu mbaga zammwe ez'okwagalana bwe balya nammwe, abasumba abeerunda bokka awatali kutya; ebire ebitaliimu mazzi nga bitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa awabiri, egyakuulibwa n'emmizi;
13 amayengo ag'omu nnyanja ageefuukuula, agabimba ejjovu ze nsonyi zaabwe bo; emmunyeenye ezikyama eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe.
14 Era abo yabalagulako Enoki, ow'omusanvu okuva ku Adamu, ng'ayogera nti Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakumi,
15 okuleeta omusango ku bonna, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.
16 Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli (n'akamwa kaabwe koogera ebigambo ebiyinga okukulumbala), nga bassaamu abantu ekitiibwa olw'amagoba.
17 Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo;
18 bwe baabagamba nti Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abasekerezi abatambula ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli okw'obutatya Katonda.
19 Abo be baleeta okwawula, ab'omubiri, abatalina Mwoyo.
20 Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu,
21 mwekuumenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo.
22 Era abalala mubasaasirenga ababuusabuusa;
23 era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.
24 Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza,
25 Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda ng'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina.