Okuva
Essuula 35
Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola.
2 Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama: buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga.
3 Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa ssabbiiti.
4 Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti
5 Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama: buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama; zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo;
6 ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
7 n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
8 n'amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
9 n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba.
10 Era buli muntu mu mmwe alina omutima ogw'amagezi ajje akole byonna Mukama by'alagidde;
11 ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
12 essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu;
13 emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga;
14 era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza;
15 n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema;
16 ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
17 ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya;
18 enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo;
19 n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona.
20 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa.
21 Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu.
22 Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama.
23 Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋoonge, n'abireeta.
24 Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta.
25 N'abakazi bonna abaalina emitima egy'amagezi ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
26 N'abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu magezi ne balanga ebyoya by'embuzi.
27 N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba;
28 n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu.
29 Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, emitima gyabwe be gyakkirizisa okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa.
30 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Laba, Mukama ayise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda;
31 era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola:
32 n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo,
33 n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi.
34 Era ateese mu mutima gwe okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani.
35 Abo abajjuzizza emitima gyabwe amagezi, okukola buli ngeri y'emirimu, egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omukozi ow'amagezi, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi egya bonna abakola emirimu gyonna gyonna, n'abo abayiiya emirimu egy'amagezi.