Okuva
Essuula 27
Era olikola ekyoto n'omuti gwa sita, emikono etaano obuwanvu, n'emikono etaano obugazi; ekyoto kiryenkanankana: n'obugulumivu bulibeera emikono esatu.
2 Era olikola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya: amayembe gaakyo galibeera ga muti gumu nakyo; era olikibikkako ekikomo.
3 Era olikola entamu zaakyo ez'okutwaliramu evvu lyakyo, n'ebijiiko byakyo, n'ebibya byakyo, n'eby'okukwasa ennyama byakyo, n'emmumbiro zaakyo: ebintu byakyo byonna olibikola bya bikomo.
4 Era olikikolera ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa; ne ku kirukiddwa olikolako empeta nnya ez'ebikomo ku nsonda zaakyo ennya.
5 Era olikiteeka wansi w'omuziziko ogwetooloola ekyoto wansi, ekirukiddwa kituuke wakati mu bugulumivu obw'ekyoto.
6 Era olikola emisituliro egy'ekyoto, emisituliro gy'omuti gwa sita, oligibikkako ebikomo.
7 N'emisituliro gyakyo giriyingizibwa mu mpeta, n'emisituliro giribeera ku mbiriizi z'ekyoto zombi, okukisitula.
8 Olikikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda: nga bwe walagirirwa ku lusozi, bwe batyo bwe balikikola.
9 Era olikola oluggya lw'eweema: eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo walibeera ebitimbibwa eby'oluggya ebya bafuta erangiddwa emikono kikumi obuwanvu oluuyi olumu:
10 n'empagi zaalwo ziribeera amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
11 Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi obuwanvu, n'empagi zaalwo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
12 Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono amakumi ataano: empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi.
13 N'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba mu buvanjuba bulibeera emikono amakumi ataano.
14 Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.
15 Era eby'oluuyi olw'okubiri walibeera ebitimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.
16 Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono amakumi abiri, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza: empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina.
17 Empagi zonna ez'oluggya ezeetooloode ziribeerako emiziziko egya ffeeza: ebikwaso byazo bya ffeeza, n'ebinnya byazo bya bikomo.
18 Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi, n'obugazi amakumi ataano wonna wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo.
19 Ebintu byonna eby'omu weema mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo.
20 Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeeyituuni agakubibwa ag'ettabaaza, okwasa ettabaaza bulijo.
21 Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama: linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna ku lw'abaana ba Isiraeri.