Okuva
Essuula 18
Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri.
2 Yesero, mukoddomi wa Musa, n'atwala Zipola, mukazi wa Musa, bwe yamugoba,
3 ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu mu bo Gerusomu; kubanga yayogera nti Nali mugenyi mu nsi etali yange:
4 n'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti Katonda wa kitange yali mubeezi wange n'amponya mu kitala kya Falaawo:
5 Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be ne mukazi we eri Musa mu ddungu eryo gye yasula ku lusozi lwa Katonda:
6 n'agamba Musa nti Nze mukoddomi wo Yesero nzize gy'oli ne mukazi wo n'abaana be bombi wamu naye.
7 Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti Otyanno? ne bayingira mu weema.
8 Musa n'abuulira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era Mukama bwe yabawonya.
9 Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri.
10 Yesero n'ayogera nti Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri.
11 Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna: weewaawo mu kigambo mwe beenyumiririza ku bo.
12 Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda: Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda.
13 Awo olwatuuka enkya Musa n'atuula okubalamula abantu: abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okusooka enkya okutuusa olweggulo.
14 Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.
15 Musa n'agamba mukoddomi we nti Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda:
16 bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasaalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.
17 Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti Ekigambo ky'okola si kirungi.
18 Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe: kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe: toyinza kukituukiriza wekka.
19 Kaakano wulira eddoboozi lyange, naakuteeseza ebigambo, Katonda abe naawe: obabeerere abantu eri Katonda, oleete ensonga eri Katonda
20 naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola.
21 Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda, ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi:
22 babasalire abantu omusango ebiseera byonna: kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka: bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe.
23 Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.
24 Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera.
25 Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza ku bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi.
26 Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka.
27 Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye ye.